TOP

Aba bbanka Enkulu bongedde okubatuuyanya

By Musasi wa Bukedde

Added 12th December 2018

Aba bbanka Enkulu bongedde okubatuuyanya

Ban1 703x422

Mackay Oum (ku kkono) akulira eby’okusasula mu bbanka Enkulu ne Justine Bagyenda (ku ddyo), eyakulirako okulondoola emirimu gya bbanka nga bali mu kakiiko ka COSASE.

AKAKIIKO ka palamenti akavunaanyizibwa okulondoola emirimu gy’ebitongole bya Gavumenti aka COSASE katandise okubuuliriza ku Crane Bank eyaguzibwa DFCU. Eggulo akakiiko lwe kaatandise okubuuliriza ku Crane Bank oluvannyuma lw’okumaliriza okubuuliriza ku bbanka endala okuli; Teefe Bank, International Credit Bank, Greenland Bank, The Cooperative Bank, ne Global Trust Bank.

Olukiiko bwe lwabadde lutandika, Abdu Katuntu ssentebe w’akakiiko yasoose kwanukula bigambo bya Pulezidenti eyasoose okwemulugunya olw’engeri akakiiko kano gye kakuttemu ensonga z’okuggala bbanka. Katuntu yagambye nti, emirimu gy’akakiiko baasalawo okugiteeka mu lwatu nga waliwo n’abaamawulire ensi esobole okumanya buli ekigenda mu maaso nti kya bwenkanya.

Okwemulugunya kwa Pulezidenti kwabadde nti wadde ng’omulimu ogukolebwa mulungi, kyokka ekikolebwa eky’okwanika ensonga zonna mu lujjudde si kituufu.

Ababaka mu lukiiko lw’eggulo mwe baakitegeeredde nti abamu ku bakulira bbanka z’ebyobusuubuzi ate be bantu be bamu Bbanka Enkulu be yalonda okugiwanga amagezi ku nsonga ezenjawulo. okuli; Timothy Kanyerezi Masembe owa MMAKS Advocates, Apollo Makubuya atuula ku lukiiko olufuzi olwa Equity Bank era be bawa bbanka Enkulu amagezi.

BBANKA ENKULU ETUUYANYE NG’ENNYONNYOLA EBYA CRANE BANK

Abakungu ba Bbanka Enkulu baasanze akaseera akazibu nga bannyonnyola ekyabatunza Crane Bank eri dfcu. Kyavudde ku kunnyonnyola nti bbanka ya Crane mu kiseera ekyo yali tekyalina ssente zigimala okuweereza abantu.

Kyokka Moses Kasibante (Lubaga North) bwe yabuuzizza omuwendo gwa ssente omutuufu Crane Bank gwe yali terina nga tewali awa muwendo mutuufu. Katuntu yawaliriziddwa okuyimiriza akakiiko okumala eddakiika munaana aba bbanka basobole okwetereeza.

Oluvannyuma olukiiko lwazzeemu era aba Bbanka bwe baamaze okwegeyaamu baategeezezza nti we baatwalira Crane Bank nga October 20, 2016 ng’ebitabo byayo biraga nti yali ebanjibwa obuwumbi 239 okusobola okudda engulu. Bannyonnyodde nti baasooka kusisinkana abaali bakulira Crane Bank n’olukiiko olufuzi ne babawa amagezi okunoonya obuwumbi 157 bazongere mu bbanka obutasukka March 31, 2016 ekintu ekyabalema. Akakiiko kaddamu olwaleero okubuuliriza ku bya bbanka ezaggalwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano