TOP

Museveni awadde Ssaabaluuli obukadde 200

By Musasi wa Bukedde

Added 12th December 2018

Museveni awadde Ssaabaluuli obukadde 200

Lap2 703x422

Museveni ng’abuuza Ssaabaluuli.

PULEZIDENTI Museveni awadde SACCO ya Ssaabaluuli, Ssaalongo Mwogezi Butamanya obukadde 200 ez’okwekulaakulanya n’amuwa ne kapyata y’emmotoka. Ate abavubuka b’omu kitundu kino abawadde obukadde 50 n’asaba abavubi okwewala okuvuba obwennyanja obuto kuba bajja kusaanyaawo ennyanja.

Yabasabye okukoppa abalaalo abakuuma obutiribiri n’okulabirira ennyana ezizaala ne zisobola okwaza ekiraalo ne bagaggawala, nabo bakuume ennyanja nga baleka ebyennyanja okumala emyezi munaana bimale okukula bizaale ennyanja ereme kusaanawo.

Yabadde ku ssomero lya Lwabyata P/S e Nakasongola mu kukuza amatikkira ga Ssaabaluuli Ssaalongo Mwogezi Butamanya ag’omulundi ogwe 14, abakulembeze ne bamubuulira amagye nga bwe gatigomya abantu ku nnyanja nga bali mu kuvuba.

Yabagambye nti bukya amagye gatwalibwa ku nnyanja ebyennyanja ebikulu bitandise okulabika mu butale. Ng’atuuse ku ky’Abaluuli okubeera ng’ettaka kwe bali si lyabwe yagambye nti tayinza kukkiriza mbeera eno era n’asuubizza okwogera n’ab’e Mmengo okulaba ng’abeebibanja tebataataaganyizibwa.

Yalagidde RDC okulondoola ensonga eno n’agattako nti ajja kwogera ne Ssaabalamuzi okulaba ng’omugagga ne bw’afuna ebiragiro bya kkooti tamala gagobaganya ba bibanja. Museveni yategeezezza nti Abaluuli batudde ku bugagga olw’emigga egibeetoolodde omuli Kyoga, Kiyira, Kafu ne Lugogo n’asuubiza okubawagira okusika amazzi bafukirire mu biseera by’ekyeya n’okugezesa ebigimusa ebyazuuliddwa e Tororo basobole okufuna amakungula amalungi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bere 220x290

Ono si katono ‘abasibe’ bamwewagguleko...

MWANAMUWALA ono y’omu ku baabadde balya obulamu ku kivvulu ekyatuumiddwa Floral & Cocktail Party ekyabadde ku Jahazi...

Siri 220x290

Ababadde basekerera Julie ku bya...

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Wanted1 220x290

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba...

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne...

Simba 220x290

Omubaka wa Amerika atadde akaka...

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti,...

Bod1 220x290

Aba Boda boda babagobye ku njaga...

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi