TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obukodyo 12 obunaakuyamba okutunda ebyamaguzi byo mu nnaku enkulu

Obukodyo 12 obunaakuyamba okutunda ebyamaguzi byo mu nnaku enkulu

By Musasi wa Bukedde

Added 12th December 2018

Obukodyo 12 obunaakuyamba okutunda ebyamaguzi byo mu nnaku enkulu

Lop1 703x422

NGA tusemberedde okutuuka mu nnaku za Ssekukkulu alina bizinensi naddala entono okyayinza okukyusa mu bukodyo bw’obadde weeyambisa okutunda ebintu byo n’osobola okwenogera kaasi awera omwaka nga tegunnaggwaako. John Ssengonzi omukugu mu byenfuna okuva ku Naalya Secondary School agamba nti, mu sizoni eno buli muntu alina bizinensi aba yeesunga kukola ssente kumpi akubiseemu mwezo z’abadde akola.

Naye bangi balemererwa okuzikola olw’enzirukanya y’emirimu gyabwe etetambula na kiseera kiriwo ate ng’abaguzi baba baagala okufuna ebintu ebirungi, nga n’abitunda yeeyisiza ddala mu mbeera eraga nti tuli mu kiseera kya njawulo. Buli lw’oba mu bizinensi olina okukyuka n’embeera eriwo, ate n’omanya n’abantu bye baagala okukozesa mu kiseera kye baba balimu olwo naawe kw’osinziira okusuubula ebintu, ekyo bwe kikulema Ssekukkulu eba egenda kuggwaako ng’ogyevuma nti nga tolina ssente ze wakolamu.

OBUKODYO BW’OLINA OKWEYAMBISA OKUTUNDA EBINTU MU SIZONI YA SSEKUKKULU

Ssengonzi agamba nti abaagala okukola ssente okusukkuluma ku balala mu kiseera kino ekya Ssekukkulu ssinga mukola bino, omwaka gujja kugenda okuggwaako nga muliisa buti.

1Timba edduuka lyo oba awantu wonna w’okolera walabike bulungi nga kasitoma bw’atuukawo ne bw’aba si waakukyama asikirizibwa okujja n’akugulako ekintu.

Kino oyinza okukikola nga weeyambisa bbaluuni n’ozeetoolooza bizinensi yonna oba okufuna akati ka Kulisimasi n’okatimbako ebimuli ebyakaayakana. Kino bw’okikola mu kiseera kino kye tuyingidde ennyingizaayo gy’obadde ofuna ojja kulaba nga yeeyongeddeko. 2 Sala ku muwendo gwa ssente z’otunda ebintu byo.

Kino osobola okukikola bwoti, nti Ssinga kasitoma agula ebintu nga biwerako omusalirako ku ssente z’alina okukuwa. Wabula olina okulaba ng’amagoba osigala ogafuna bulungi. Kino kigenda kwongera okukuleetera bakasitoma abalala kubanga gw’osaliddeko y’agenda okukuleetera abantu abalala bakuwe ssente.

3 Suubula ebintu ebitambula era ebiri ku mutindo ate nga bituukana ne sizoni ya Ssekukkulu. Bwe kiba kiteeteeyi kya mwana muwala kirina okuba nga ddala kirabika bulungi nga bw’akyambala buli omu asigala amunyeenyeza mutwe. Kino kijja kusikiriza abantu okukugulako ebintu nga ne bw’omuseera asigala akuwa ssente kuba aba akyagala.

4 Yambako bakasitoma bo okulonda n’okugula bye baagala. Ssinga olaba nga kasitoma alonda ekintu ekitagenda kumunyumira mugambe akyuseemu kubanga bw’anaakitwala n’akyambala n’atalabika bulungi aba tagenda kudda ate tasobola kukuleetera bakasitoma balala. Naye bw’alaba nga ky’omulondedde kirabise bulungi emikisa gy’okufuna bakasitoma abalala abakuleetere giba mingi ddala. Ate abaguzi bwe beeyongera ne ssente ng’ofuna.

5 Yambala bulungi osikirize bakasitoma okugula by’otunda. Bw’oba mutunzi wa mmere weewale okujja mu bakasitoma ng’olabika bubi ate ne bw’oba mutunzi wa ngoye, yambalako bulungi kasitoma agende okukutunulako nga ddala osaanidde okumuguza olugoye.

6 Weekenneenye abakozi b’okozesa mu kiseera kino. Bw’oba obadde ne b’otambula nabo okuva emabega tokemebwa kuwandiika balala, kubanga abakozi abasinga bagenda okujja nga baagala kufunamu ze bagenda okulya mu nnaku enkulu era bw’oteegendereza, kyangu okukubba bizinensi n’esigala nga nkalu Ssekukkulu n’ogiyitamu ng’onyiga biwundu.

7 Bizinensi togireka mu mikono gya muntu mulala yenna. Ssinga okemebwa mu kiseera kino eky’ennaku enkulu bizinensi n’ogivaamu n’ogikwasa omuntu omulala tojja kufunamu kitegeera, ogenda kusigala ku muwendo gwa ssente gwe gumu gw’obadde ofuna b’okozesa bakusinge okufuna ssente. Naye ssinga onoosigala nga weddukanyiza buli kimu ogenda kufunamu nnyo kuba buli kimu ojja kuba okibalirira.

8 Beera mu mbeera ya Ssekukkulu n’olulimi lw’okozesa lube nga lwogera Ssekukkulu. Olw’okuba omuwendo gw’abantu ogusinga ebiseera bya Ssekukkulu bwe bituuka baba tebaagala kuwulira kirala kyonna, kasitoma bw’ajja okukugulako ekintu n’asanga ng’embeera z’olimu tezikwatagana na zize kyangu nnyo okunoonya awalala w’anaafunira emirembe ezo ssente ne zikusuba.

9 Sasula bulungi abakozi b’okozesa baleme kufuna mutima gubba bizinensi yo okugikaliza. Mu kiseera kino omukozi naye aba ayagala nnyo ssente asobole okusanyusa abantu be balinako obuyinza nga ssinga omusasula bulungi ajja kukola n’omutima gumu ng’ali mu bizinensi eyiye. Naye ssinga tosasula bakozi, ojja kubasikiriza okukubba sizoni ekusale.

10 Fuba okulaba nga buli lw’onnyuka oleka obaze ebitabo byo naddala mu kiseera kino kye tuyingiramu ojja kuyambibwa okumanya oba amagoba geeyongera kulinnya oba nedda era bwe kiba nti tegalinnya osobole okusala amagezi engeri gy’olina okufunamu ssente mu kiseera kino. Mu ngeri y’emu ojja kwanguyirwa okumanya ssinga wabaawo ebintu ebibula nga tomanyi.

11 Teekawo omutemwa gwa ssente gw’olina okutuukiriza buli lunaku. Okugeza, oyinza okugamba nti olunaku nteekwa okufuna 100,000/-. Kino kijja kukuyamba okuyiiya engeri zonna z’osobola okusikirizaamu bakasitoma okujja bagule by’otunda okulaba ng’ekigendererwa kyo kituukirira.

12 Mu kiseera kino bw’oba n’ebyuma ebikuba myuziki teekako ennyimba eziraga nti ddala tuli mu kiseera kya Ssekukkulu kijja kukuyamba okusikiriza abantu okujja okukugulako ebintu kubanga ennyimba ezo ziteeka abantu mu mbeera eragira ddala nti bali mu nnaku nkulu era omuntu bw’alusanga nga balutaddeko tayagala kusimbula kuva weruli.

Gift Nakimuli omusuubuzi w’engoye e Kabuusu ku katale agamba nti; “Newankubadde edduuka lyange teriri mu kibuga wakati naye bakasitoma bange batandise okumbuuza ekiraga Ssekukkulu we nkolera.

Bwe nafunye abantu nga bataano nga bonna bambuuza ekintu kye kimu ne nsalawo ngule ebimuli mbitimbe mu dduuka kyongere okulaga abantu bange nti ddala Ssekukkulu yatuuse dda.

Okumanya kikola, ntandise okulaba abajja ne bangulago engoye naye nga bamaze kutunuulira dduuka lyange bwe lifaanana era waliwo omwami eyanguzeeko essaati n’ahhamba nti ekimukyamizza kwe kulaba edduuka nga lirabika bulungi. Olw’okuba ntandise okukiraba nti omuwendo gwa bakasitoma gutandise okweyongera hhenda kwongerera ddala okukola ebintu ebisikiriza bakasitoma bajje banguleko kubanga kyeraze lwatu nti mu kiseera kino ataafe ku bizinensi ye ayinza obutakola bulungi ssente mu Ssekukkulu.”

NNYONGEDDEMU EBINTU BYE MBADDE SIRINA

Nisha Kaweesi omusuubuzi w’ebintu by’abakyala e Kasubi yagambye nti, akeetalo k’abantu okugula ebyetaago katandise, era kati naye atandise okutunda ssente eziwerako okusinga gye buvuddeko emabega. “Bwe ndabye guli gutyo ate nga ne bye bambuuza bingi bye sirina ne nsalawo nfune ssente nnyongeremu bye mbadde sirina kasitoma nga bw’ajja okugula olugoye nsobola okumugulizaako engatto, ensawo, essaawa awamu n’obukomo ate nga ne bw’aba ayagala galubindi asobola okuvaawo ng’azirina.

Kino nkikoze kinnyambe okutaayiza kasitooma bw’ajja ne ssente ate nneme kuwa balala mukisa kuzintwalako byonna by’ayagala abe ng’asobola okubiggya mu dduuka lyange era nsuubira nti we naamalirako ennaku zino enkulu nga waakiri nninawo ssente ze nkoze ezitegeerekeka

Gift Nakimuli omusuubuzi w’engoye e Kabuusu ku katale agamba nti; “Newankubadde edduuka lyange teriri mu kibuga wakati naye bakasitoma bange batandise okumbuuza ekiraga Ssekukkulu we nkolera. Bwe nafunye abantu nga bataano nga bonna bambuuza ekintu kye kimu ne nsalawo ngule ebimuli mbitimbe mu dduuka kyongere okulaga abantu bange nti ddala Ssekukkulu yatuuse dda. Okumanya kikola, ntandise okulaba abajja ne bangulago engoye naye nga bamaze kutunuulira dduuka lyange bwe lifaanana era waliwo omwami eyanguzeeko essaati n’ahhamba nti ekimukyamizza kwe kulaba edduuka nga lirabika bulungi. Olw’okuba ntandise okukiraba nti omuwendo gwa bakasitoma gutandise okweyongera hhenda kwongerera ddala okukola ebintu ebisikiriza bakasitoma bajje banguleko kubanga kyeraze lwatu nti mu kiseera kino ataafe ku bizinensi ye ayinza obutakola bulungi ssente mu Ssekukkulu.” NNYONGEDDEMU EBINTU BYE MBADDE SIRINA Nisha Kaweesi omusuubuzi w’ebintu by’abakyala e Kasubi yagambye nti, akeetalo k’abantu okugula ebyetaago katandise, era kati naye atandise okutunda ssente eziwerako okusinga gye buvuddeko emabega. “Bwe ndabye guli gutyo ate nga ne bye bambuuza bingi bye sirina ne nsalawo nfune ssente nnyongeremu bye mbadde sirina kasitoma nga bw’ajja okugula olugoye nsobola okumugulizaako engatto, ensawo, essaawa awamu n’obukomo ate nga ne bw’aba ayagala galubindi asobola okuvaawo ng’azirina. Kino nkikoze kinnyambe okutaayiza kasitooma bw’ajja ne ssente ate nneme kuwa balala mukisa kuzintwalako byonna by’ayagala abe ng’asobola okubiggya mu dduuka lyange era nsuubira nti we naamalirako ennaku zino enkulu nga waakiri nninawo ssente ze nkoze ezitegeerekeka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Untitled3 220x290

‘Gy’otega amaggwa...’

ABAAGEREESA nti gy’otega amaggwa gye bakuzza anti lutuukira bulungi ku ba KCCA bano abaagudde mu kinnya kyabwe....

Pala1 220x290

Omuwala afiiridde mu ssaluuni omulala...

Omuwala afudde mu ngeri erese ekitundu mu ntiisa sso ng’ate munne bwe baasuze mu muzigo gwe gumu addusiddwa mu...

Muhayiminanamuwayaowajkldolphinswakatingalwaniraomupiiraneroseakonkuddyonezainahlokamweriaba9317 220x290

Fayinolo ya liigi mu basketball...

Flavia Aketcho kapiteeni wa JKL ne Sarah Ageno owa UCU buli omu awera kulemesa munne kikopo.

Ju1 220x290

Laba ekyabadde ku Introduction...

Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n'erinnya eppya omwami we lye yamuwadde

Bobiwine4e1575702705296 220x290

Engule Bobi Wine gye yawangudde...

ENGULE Bobi Wine gye yafunye ey’omuntu asinze okulwanirira eddembe lyobuntu mu Afrika esuubirwa okumwongerako ku...