TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekibiina kya Gen. Mugisha Muntu akituumye erinnya

Ekibiina kya Gen. Mugisha Muntu akituumye erinnya

By Musasi wa Bukedde

Added 13th December 2018

EKIBII NA ky’ebyobufuzi ekipya ekya Gen. Mugisha Muntu eyakaabulira FDC olw’obutakkaanya ne Dr. Kizza Besigye kituumiddwa National Alliance Party, NAP.

Generalmugishamuntu678381 703x422

Gen. Mugisha Muntu

Akakiiko k’ebyokulonda ke kalindiriddwa okuwa Maj. Gen. Muntu satifikeeti ekakasa ekibiina kino nti kiri mu mateeka ng’ebibiina byobufuzi ebirala era kya ddembe okulonda abakulembeze n’okuggulawo amatabi mu Uganda yonna nga kigoberera amateeka agafuga ebibiina byobufuzi.

National Alliance Party (NAP), moto yaakyo egamba nti ‘Country before Self ’ (ekivunulwa nti, ‘eggwanga lye lisooka’, wabula langi z’ekibiina kino, akabonero n’ekitebe ky’ekibiina bikyakuumibwa nga bya kyama.

Maj. Gen Muntu eyali Pulezidenti wa FDC wakati wa November 22, 2012 ne November 24 2017, yalangirira nga September 25, 2018 nti avudde mu FDC n’asuubiza okutongoza ekibiina ky’ebyobufuzi ekipya nga Ssekukkulu tennatuuka.

Ensonda mu kibiina ekipya zaategeezezza nti enteekateeka zonna ziwedde era okuggyako nga wanaabawo ekinaakyukamu, ekibiina kya National Alliance Party (NAP) kisuubirwa okutongozebwa ku Lwokutaano lwa wiiki ejja December 21, 2018 terunnayita.

Bwe yatuukiriddwa, Muntu yategeezezza nti akakiiko k’ebyokulonda ke balinda okukakasa ebiwandiiko by’ekibiina kyabwe kubanga empapula ne kalonda yenna eyeetaagisa mu kutandika n’okuwandiisa ekibiina ky’ebyobufuzi baabimaliriza dda. “ Ssiyinza kwogera bisingako awo okutuusa ng’akakiiko k’ebyokulonda kakasizza ebiwandiiko byaffe”, Maj. Gen. Muntu bwe yategeezezza omusasi ono.

Ensonda zitegeezezza nti, Muntu waakusooka kukola ng’omuyima w’ekibiina kino ng’ayambibwako abakwanaganya abakulira ebitundu bya Uganda ebina; Buganda, Obugwanjubwa, Obukiika kkono n’Obuvanjubwa.

Ng’oggyeeko abakwanaganya b’ekibiina abagenda okukulira ebitundu, ekibiina kigenda kubeera n’abakunzi n’okukumaakuma abantu nga bano baakubeera ku mitendera ogw’ebitundu bya Uganda ebina.

Abakulembeze bano baakusooka kubeera bakiseera buseera nga Ttabamiruka w’ekibiina bw’ateekebwateekwa okulonda abakulembeze b’ekibiina abajjuvu.

Amannya g’abakulembeze bano gakyakuumibwa nga ga kyama kyokka ensonda zaategeezezza nti abasinga be bamu ku babadde abakulembeze ku lukiiko olufuzi olwa FDC abaagobeddwa mu lutuula olw’enjawulo olwa FDC olwatudde ku Lwokutaano e Najjanankumbi.

Abamu ku baagobeddwa FDC kuliko: Rajab Kaaya Ssemakula (abadde akulira FDC mu Buganda), Alice Alaso (abadde akulira FDC mu bugwanjubwa), omubaka Paul Mwiru (abadde omumyuka w’omwogezi), Yowasi Bihande (abadde akulira okukunga abantu mu bugwanjuba), omubaka Ezati Kassiano Wadri (abadde akulira okukunga abantu mu bikiika kkono) n’abalala.

Kigambibwa nti FDC okugoba abakulembeze abo kyaddiridde amawulire okubagwa mu matu nti baasazeewo okugenda mu kibiina kya Muntu era yabawadde dda ebifo.

MUNTU ALEESE KATIKKIRO MULIIKA

Maj. Gen Muntu ne banne bwe baayabulidde FDC, ensonda zaategeezezza bali mu nteeseganya n’eyali Katikkiro wa Buganda Dan Muliika okubeera ssentebe w’ekibiina kino olw’obugundiivu n’obumanyirivu bw’alina mu byobufuzi n’obukulembeze.

Muliika yateegezezza omusasi ono nti talina buzibu kwogeraganya n’abantu abalina ebigendererwa ebyokutereeza n’okukulaakulanya Uganda okugituusa ku mitendera buli Munnayuganda w’asobola okugyeyagaliramu.

“ Nze ssaagalirako ddala bibiina byabufuzi ebitalina mulamwa na bigendererwa y’ensonga lwaki sirina kibiina kya byabufuzi, naye bannaffe abo bwe baabeera baagala twogere, nze sirina buzibu”, Muliika bwe yategeezezza ku ssimu eggulo.

Yagambye nti ekibiina kyonna ekitalina kiruubirirwa ye tayinza kukibeeramu n’agamba nti ebyobufuzi biringa muzannyo gwa mupiira, ttiimu yonna erina okunoonya okuteeba ggoolo okusobola okutuuka ku kigendererwa eky’okuwangula ebikopo oba empaka.

Ensonda zaategeezezz nti Muntu era ali mu nteeseganya ne bannabyabufuzi Ben Wacha eyali owa UPC nga yakiikirirako ekitundu kya Oyam North ng’ono baagala abeeressaabawandisi w’ekibiina ekipya.

Abalala Muntu baali mu nteseganya nabo be bannamateeka Dan Wandera Ogalo, Wilberforce Seryazi abagenda okubeera ku ttiimu y’akakiiko ak’ebyamateeka mu kibiina ekipya era kigambibwa nti bano be bamu ku babadde mu nteekateeka ez’okuwandiisa ekibiina mu kakiiko k’ebyokulonda.

Kyakaanyiziddwa nti ekibiina kino tekigenda kubeera na Pulezidenti ng’ebibiina ebirala wabula kigenda kubeera n’akakiiko akafuzi nga ke kalina obuyinza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano