TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannabyabufuzi bavuluze enteseganya za Museveni n'abamuvuganya

Bannabyabufuzi bavuluze enteseganya za Museveni n'abamuvuganya

By Muwanga Kakooza

Added 13th December 2018

BANNABYABUFUZI b’oludda oluvuganya bakubye ebituli mu nsisinkano ya Pulezidenti Museveni n’ebibiina ebivuganya gavumenti ye ne bagamba nti tewali kya makulu kyatuukiddwaako okuggyako okwekubya nabo ebifananyi.

Ipod1 703x422

Museveni n'ayogera eri abooludda oluvuganya Gavumenti

Basiimye  FDC olw’okugaana okubyetabamu. Ensisinkano ya Pulezidenti Museveni n’ebibiina ebivuganya gavumenti ebirina ababaka mu palamenti eziri mu ntegeka ezimanyiddwa nga ‘IPOD’ yabadde ku Speke Resort e Munyonyo.

Pulezidenti wa CP Ken Lukyamuzi yagambye nti ensisinkano temwabadde makulu n’atendereza ‘’FDC okubizira.’’ Lukyamuzi yagambye:  ‘’(Ababyetabyemu) baavudde ku mulamwa ne badda ku bitaliimu. Bandibadde booera ku lwaki Konsityusoni egaanyi okukola ebibiina ne bituulwako ng’ate okulonda kwa 2021 kusembedde’’ .

N’agamba nti essuubi kati libali mu nteseganya z’eggwanga eza ‘national dialogue’ ezibindabinda.

Omwogezi wa FDC era omubaka w’e Kira munisipaali Ssemnujju Ng’anda yagambye nti tebazeetabyemu lwa kuba baazirabye teziriimu bwesimbu nga tewali kalungi kayinza kuzivaamu.

‘’Pulezidenti Museveni ne bw’aba asisinkanye ba NRM banne tebalina kye bakanyaako okuggyako ye okubakakatikako ebinye by’aba ayagala bikole.

FDC tesobola kugenda mu nsisinkano kuteesa ku Museveni wabula eyagala kuteesa ku Uganda’’ Ssemujju bwe yagambye n’anenya ababadde mu nsisinkana okuva ku nsonga enkulu ne badda mu byakubuuza Museveni agenda ddi ekitalina kye kyayambye.

Yannyonnyodde  nti FDC okwetaba mu nteseganya ng’ezo eba ng’egenze mu kuzaanya era abantu bayinza okugiraba obulala.

Yayongedde nti ensisinkano nga ng’eno yandigenze okutuukibwako nga waliwo ebintu ebyakanyiziddwaako edda enjuyi zonna (abavuganya ne NRM) era abakulembeze b’ebibiina bandibadde bagendayo kussa mikono ku bisalidwaawo.

Yannyonnyodde nti ba Ssabawandiisi b’ebibiina by’obufuzi bandisoose ne batuula n’ebibiina ssekinomu  ne batuuka ku kukaanya ne balyoka bayite ababikulembera okussaako emikono sso ssi kugenda mu kuteeseganya ne bagaana okukaanya nga bwe gwabadde ne bamala ne bafuluma.

Loodi meeya wa Kampala Erias Lukwago yagambye ku mukutu gwa ‘facebook’ nti enkola ya IPOD  ya kuzanyirira.

N’agamba nti talina kalungi kaasuubira mu nteseganya ziri mu IPOD nga pulezidenti Museveni yazikubiriza.

Yannyonnyodde nti ebya  ‘IPOD’  byasibuka  Ghana abantu gye baali banabidde eyali Pulezidenti wayo Gerry Rowlings maaso nga bawakanya eby’okukyusa  Konsityusoni ya 1992 era ebyayo byakola  lwakuba abantu baali baali basoose kwekyawa.

Kyokka n’agamba nti mu Uganda enteseganya ng’ezo okubaako nga Pulezidenti Museveni y’akyali mu buyinza kuba ‘kuweweeta nakyemaalira’’ era n’agamba  nti yewunyizza kiki ab’ebibiina ebivuganya bye basuubira okufuna mu nsisinkano za IPOD nga waliwo n’ebirala eby’okukyusa amateeka ebyakanyizibwako (mu nkola y’emu ) mu 2010 ne 2014 kyokka NRM n’ebisuula mu kasero.

DP yetabye mu nteseganya zino kyokka Bukedde teyasobodde kwogera na bakulembeze baayo kulaga bye baafunyeeko.

Essimu ya Pulezidenti  Nobert Mao ne Ssabawandiisi Gerald Siranda tebagikutte kubaako kye bannyonnyola.

Ng’ate omwogezi w’ekibiina Keneth Kakande yagambye nti te teyazeetabyemu n’ajjuliza Pulezidenti we Mao y’alina okulaga ekibiina kye kyafunyeeyo.

Ebibiina ebirala ebyetabyemu kwabaddeko UPC ekulemberwa mutabani wa Obote, Jimmy Akena, JEEMA ekulemberwa omubaka w’ekibuga Bugiri Asuman Basalirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bba wa Julie Angume talabiseeko...

JULIE Angume ebintu bimutabuseeko bbaawe omupya, Sam Sekajugo bw’atalabiseeko ku mukolo gwe ogw’okumwanjula mu...

Fanayo 220x290

Obukodyo mukaaga bwe nkozesa okulembeka...

OBUYIIYA bwa ssente ebiseera ebisinga kiva ku kusoma embeera gy’otambuliramu, kati mu kaseera nga kano ak’ennaku...

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.