TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni n'abamuvuganya

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni n'abamuvuganya

By Musasi wa Bukedde

Added 13th December 2018

PULEZIDENTI Museveni asisinkanye abakulembeze b’ebibiina byobufuzi ebinene mu ggwanga ne bamwanjulira ebizibu ebimaze ebbanga nga bibatawaanya n’okumusaba nti akkirize ave mu bukulembeze era abeerewo ku mukolo gw’okulayiza anaamuddira mu bigere.

United 703x422

Pulezidenti Museveni, Jimmy Akena (UPC - ku kkono) Nobert Mao (DP - wakati) ne Asuman Basaalirwa (JEEMA - ku ddyo).

Wabula bino Pulezidenti yagambye nti si bye bizibu by’eggwanga n’abagamba basse essira ku nsonga ennene eziruma abantu.

Baamugambye nti Uganda nnene tegenda kukoma ku bakulembeze baliwo era obwetaavu bw’ebibiina byobufuzi okusisinkana mu mukago gwa 'Inter Party Organization for Dialogue (IPOD) bagiganyuddwaamu nnyo era evuddemu ebibala bingi.

Akafubo kaabaddemu ebibiina bina kw’ebyo ebitaano ebirina ababaka mu Palamenti okuli DP, NRM, JEEMA ne UPC kyokka FDC yagaanye okwetaba mu lukiiko luno olwabadde e Munyonyo ng’egamba nti tebalamu bibala biyinza kuluvaamu.

Mu kafubo, abeebibina baayanjulidde Museveni ensonga ezibaluma omuli okussa ekitiibwa mu bakulembeze b’ebibiina ebivuganya gavumenti, okukyusa obuyinza mu mirembe, ebitongole bya gavumenti okutulugunya abantu n’okubakwata nga tebimaze kunoonyereza, ebibiina byobufuzi byonna okukiikirirwa mu Palamenti ya East Afrika, okwongera ku ssente eziweebwa ebibiina byobufuzi ebivuganya gavumenti ebirina ababaka mu Palamenti nga baagala waakiri buli kibiina kifune obuwumbi bubiri buli mwaka, abakulembeze obutakkirizibwa kukuba nkuhhaana, gavumenti okutwala abagivuganya ng’abalabe b’eggwanga, okukozesa eryaanyi erisusse, enguzi esusse, okukyusa akakiiko k’ebyokulonda, okussa ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu, okukyusa olulimi oluvvoola abeebibiina, okwawula ebya NRM ku by’eggwanga, obutali bwenkanya mu ngaba y’emirimu mu bitongole bya gavumenti n’ensonga endala.

Pulezidenti wa DP Nobert Mao ye yaleese ekya Pulezidenti okudda ebbali wabeewo okulonda nga takuliimu aweeyo obuyinza mu ddembe abantu balabe ku nkyukakyuka esoose etaliimu kukozesa mmundu.

PULEZIDENTI ABAANUKUDDE

Pulezidenti Museveni yabaanukudde n’abategeeza nti, yeewuunya bannabyabufuzi abalowooza buli kiseera nti, ye okuva mu ntebe y’ensonga egenda okumalawo ebizibu byonna.

Yabategeezezza nti ye teyayingira mu byabufuzi nga munnabyabufuzi era mu famire ye temuli wadde ayagala byabufuzi era bye boogera tabiraba nga nsonga eyinza okuyamba eggwanga.

Yagambye nti yayingira mu byobufuzi lwa nsonga ttaano kyokka yabawaddeko bbiri lwaki yabiyingira era akyabirimu.

Yagambye nti yayingira ebyobufuzi lwa nkulaakulana omuli okulwanyisa obwavu, okukulaakulanya amakampuni n’eggwanga era ayagala abantu bakulaakulane n’okukola ebintu eby’enjawulo.

Yagambye nti yayingira ebyobufuzi lwa byakwerinda bya ggwanga n’okulwanyisa abantu abaali batabangula emirembe n’abafuzi b’amatwaale abaali baagala okumaamira Afrika nga bwe baamaamira Amerika.

Yagambye nti abakulembeze b’ensikirano baalemwa okukuuma eggwanga kyokka ye asobodde okulikuuma era ayagala okulaba nga bannansi beeyagalira mu ggwanga lyabwe awatali kumaamirwa bafuzi b'amatwale.

Yeewunyizza abalowooza nti ye ky’ekizibu ky’eggwanga era bamusaba aveeko n’agamba nti abo tebamanyi era ensonga enkulu ezisobola okuyamba eggwanga bazibuusa amaaso ne boogera ebitali bya mugaso.

Yagambye nti n’ekya poliisi okuyimiriza enkuhhaana z’abooludda oluvuganya kya kugenda mu maaso kubanga waliwo abazitegeka nga balina ebigendererwa eby’okutabangula emirembe.

Oluvannyuma lw’olukiiko, Mao yategeezezza nti byonna ebibadde bibanyigiriza Pulezidenti abitegedde kyokka tekitegeeza nti akazito ke babadde bamutaddeko bakakomezza.

Yagambye nti bwe gaba masannyalaze gabadde matono naye kati bagongeddeko amaanyi era okumusisinkana teyeeyibaala nti obwetaavu bwe bamubanja ave mu buyinza buweddewo.

Yagambye nti ensisinkano eno egguddewo essuula empya n’essuubi ery’okulaga abantu nti abakulembeze basobola okutuula awamu olw’ekigendererwa ky’okubatunuza eggwanga gye liraga.

Pulezidenti wa JEEMA Asuman Basalirwa yategeeza nti asuubira nti keewedde ebizibu ebibadde bibanyigirizza bikomye.

Yayanjudde nti bannabyabufuzi tebabakkiriza kukuba nkiiko.

Yagambye nti Gavumenti etuuse ku ddaala erigaana omubaka era omuyimbi Robert Kyagulanyi okukola ebivvulu ng’abaserikale bamuyimiriza buli kiseera kyokka asuubira nti byonna bikomye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nnasale 220x290

Omusomesa wa King Fahad asobezza...

POLIISI ekutte omusomesa w’essomero lya King Fahad Islamic Primary School e Nateete nga kigambibwa nti yasobezza...

Kwiini 220x290

Nnabe agudde mu Bwakabaka bwa Bungereza:...

NNABE agudde mu bwakabaka obusinga amaanyi mu nsi yonna, Kkwiini wa Bungereza bw’awummuzza mutabani we ow’ekyejo...

Kola 220x290

Museveni awabudde ku bakukusa ebyamaguzi...

PULEZIDENTI Museveni awabudde ebitongole by’omusolo ku lukalu lwa Africa ku byamaguzi ebikukusibwa. Abiwadde amagezi...

Genda 220x290

King Micheal ne Big Eye bagudde...

King Micheal ne Big Eye bagudde mu bintu. Pulezidenti Museveni abawadde buli omu ente 30.

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.