TOP

Musisi asiibudde mu sitayiro

By Musasi wa Bukedde

Added 15th December 2018

Musisi asiibudde mu sitayiro

Mab1 703x422

Jennifer Musisi ng’asiibula.

JENNIFER Musisi Ssemakula awaddeyo ofi isi y’obwadayirekita wa Kampala ng’ebula olunaku lumu, ennaku z’omwezi ze yawa okulekulira zituuke. Pulezidenti Museveni abadde tannaba kulonda amuddira mu bigere. Obuyinza n’ebintu bya ofi isi abikwasizza minisita wa Kampala Beti Namisango Kamya ku mukolo bangi gwe bagambye nti agukoleddemu obubadi.

Yajjidde mu busuuti era obwedda atambula akaga era bwe yatuuse okusiibula, yawanise ekigalo okulaga obuwanguzi. Omukolo gwabadde ku City Hall ku Lwokutaano. Awaddeyo ebyapa by’ettaka 250, akawunti z’ekitongole 13 nga kuliko ssente obuwumbi 113, lipooti ezikwata ku bakozi, enzirukanya y’emirimu mu KCCA, lipooti ku kivvulu kya ‘carnival’, ebiteeso mu Kampala, ebyobugagga bya KCCA ne fayiro ekwata ku ofi isi ye.

Yagambye nti ekibuga yakisanga kiri bubi nnyo nga KCC ekiseera ekyo erina akawunti mu bbanka eziwera 151 n’aziggala era abadde emirimu agikola mu mateeka. Yategeezezza nti emyaka musanvu n’ekitundu gy’amaze mu Kampala alese akyusizza bingi era aleseewo ttiimu y’abakozi abakugu b’ayagala gavumenti eyongere okuwa obuwagizi emirimu bagitwale mu maaso.

Minisita Beti Kamya yategeezezza nti fayiro n’ebintu byonna abifunye naye tamanyi birimu. Yagambye nti byonna nga bwe babimukwasizza abiwadde Ssaabawolereza wa Gavumenti ayongere okubyetegereza.

Yagambye nti Jennifer bwe yawandiikira pulezidenti teyamuddamu ate abadde tannaba kulonda dayirekita mupya. Agambye nti ofi isi ya dayirekita kati eri mu ofi isi ye. Yategeezezza nti buli kimu kigenda kutambula nga bwe kibadde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....

Lop2 220x290

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu...

Bakasukidde ab’e Ntinda ebintu