TOP
  • Home
  • Amawulire
  • K- Palm beach abaagwa mu nnyanja gye baali balaga okucakala

K- Palm beach abaagwa mu nnyanja gye baali balaga okucakala

By Musasi wa Bukedde

Added 15th December 2018

K- Palm beach abaagwa mu nnyanja gye baali balaga okucakala

Lip2 703x422

NAKYADDEKO ku bbiici ya K -Palm eryato kattira gye lyali litwala wabula okutuukayo kuluma bujigi. Abandagiridde bahhambye nti olutuuka e Mukono nga kiwedde. Wabula kyambuseeko ng’okuva e Mukono okutuukayo ziri mayiro 30 ate nga 17 za ttaka, ennya otambulira mu kibira ekyabadde kiseerera.

Bwe nagasseeko ekikangabwa ky’eryato lya MV Templa eryatta abantu nga ne nnannyini lyo, Templa Bisase ne mukyala we Sheila kw’ali ne ntandika okutya. Bw’oba onaatera okutuuka ku bbiici, erudda n’erudda olaba nsiko, nkima mpozzi n’abaana abato bubiri abaabadde beetisse ensekese z’enku be nnasanze.

Ekyasoose okunnyiiza nga sinnatuuka na mu kibira, lwe luguudo lw’e Mukono – Kyetume – Katosi – Nyenga olwatandika okukolebwa nga July 7, 2014 okuba nga terunnaggwa ng’awamu lwa ttaka, awalala lwaggwa naye tebannaggulawo ng’emmotoka zenyigiriza ate nga zidduka awatali kugoberera mateeka g’ebidduka.

Bwe natuuse e Ntenjeru, ddereeva wa Vision Group etwala ne Bukedde twasazeewo ne tuddamu tubuuze K Palm gy’eri awatuufu ne batutegeeza nti tukyabulamu nnyo wabula ekyatwanguyizza, aba bodaboda bwe baatugambye nti tugobe bugobi kapande ka Lakeside beach eriraanye ne K Palm kubanga Templa ku yiye kuliko akapande kamu kokka ate okalaba ogituuseeko.

Ekitundu kirimu bbiici nnyingi naye K -Palm y’ezisinga obunene. Anti Templa muzzukulu wa Kisosonkole abasinga ettaka eddene mu kitundu kino. Wabula nazudde nti olw’entambula enzibu ng’oyise Mukono mu mmotoka, abantu abagendayo, babadde balina kukozesa lyato nga basimbula ku KK Beach e Ggaba nga bwe baakola nga November 24, 2018. Mutima Beach ne K- Palm tezeesudde bbanga ddene era kumpi bannaffe baali batuuse. Naye bw’otuuka ku K -Palm obasaasira nti oba bandivuddeyo batya ekiro ennyo! Kyokka ekyo tunaakiddira.

Olw’ebinnya ebingi ng’ate ekkubo liseerera okuva e Ntenjeru, natandise okuwulira obusungu ku baalya ssente z’oluguudo lw’e Katosi naye ebyo ne mbimma amazzi.

Natandise okubala bbiici ne loogi eziri ku luguudo olwo ne nkakasa nti Bannayuganda baagala amasanyu. Ggwe ate buloogi nga Inland Inn, Paradise Inn, Geresema lodge n‘endala.

Natuuse akaseera ne neebuuza oba kiki ekyagwa mu bitundu by’e Katosi ebyo gye nabadde? Ggwe ate ebizibu bingi bye basanga ng’ogyeeko eryato okuba nga lyabbira ligenda mu kitundu ekyo n’eyalya ssente z’oluguudo omuyimbi Stabua Natooro gye baamukubidde nga November 8, 2018 ne wayita wiiki bbiri eryato ne litta abagendayo.

Eyo era mu December wa 2012 gye baayokera emmotoka ya Stecia Mayanja abamu ku bayimbi be yali ayimba nabo mu Eagles Production bwe bataalabikako. Ekyammaze enviiri ku mutwe kwe kutuuka mu katawuni k’e Mpatta era nga y’eggombolola etwala Mutima ne K -Palm Beach ezoogerwako ku lyato eryabbira ne mbuuza abantu K- Palm gy’eri.

Mba mbasaasira olw’abantu abaafa nga bagenda mu kitundu kyabwe ng’eryato ganyegenya balitisse nnyo, omukyala omu kwe kunziramu nti; Ggyawo gwe naawe otuzunzizaako olugambo, eryo eryato olwo lyali litisse nnyo! Ffe tutikka amaato wano ne tugassaako ne bodaboda, ensawo z’amanda, abaana abagenda okusoma, abavubi, abalimi, ebyennyanja n’ebintu ebirala bingi ne gakka nga gabulayo yinsi nga ssatu okubbira ku mazzi naye ne tutuuka gye tulaba.

Abo zaabadde ntuuko zaabwe era ffe twabasabira ne tukita. Yinsi ssatu z’ayogerako zigeraageranye ku musumaali gw’akatiko gwe bakomereza ennyumba amabaati. Oyo namutadde ne neeyongerayo ne nzisa ekikkowe nga ndaba akapande ka K- Palm ne neekubisizaawo n’ekifaananyi okulaga nti ntuuse mu kifo ekituufu ab’eryato gye baali balina ‘okukiggalira’ nga tebannafa.

Ekyammazeeko emirembe, ye maneja w’ekifo eyannengedde nga n’emmotoka tennazikira n’antegeeza nti tudde gye tuva kubanga ekifo tekikkirizibwamu bifaananyi ate kikuumwa butiribiri! Sha.. omuntu atambudde olugendo olwo lwonna ssaako ne jaamu w’e Bweyogerere - Seeta - Mukono oyinza okumugamba ebyo! Awo twaluddeyo era ebyabaddewo mbisirikidde naye ekifo kyo Templa bambi yali akizimbye.

Kirina ekifo abantu we bazannyira emizannyo ng’omupiira, obusiisira bwe muwummuliramu, ebisulo by’obusiisira era ndowooza bino bye baali bagenda okusulamu ggwe ate abaasimbula essaawa 10:00 ez’akawungeezi ate nga bagenda ku mukolo gwa kuggulawo kifo, baali banaakomawo ssaawa mmeka?

Kuliko ekidiba ekiwugirwamu, ekizimbe ekinene wabula nga tekinnaggwa era kino ky’ekikolebwako emirimu gy’ekifo. Bbiici yali ekyazimbwa naye nga tennaggwa wabula ekyo tekyandigaanye bali ba ssente kusanyukirayo kuba ebisinga biri ‘kkiriya’. Kiriko ebbaala n’emifaliso egiri mu bitundu eby’enjawulo omuntu kw’asobola okwewunzikako n’ebyesuubo ebyakolebwa mu busero era nga nabyo abaagalana basobola okubyebakamu nga bwe bibawuuba.

Bwe nabadde nkomawo, nakizudde nti singa eryato lyatuuka ku K- Palm ne libbira nga lidda Kampala, abandiwonye bandibadde batono nnyo olw’amasanyu amangi ge bandisanzeeyo n’omwenge gwandibadde gususse gwe baali banywedde nga bagenda saako obukoowu bw’olugendo.

Eryato tebandisobodde na kugezaako ‘kulibaalansinga’ nga bwe baafa bagezaako. Nnekanze obudde buwungedde nga n’enyanyaagize zitandise okukaabira mu miti emiwanvu egyetoolodde bbiici eno ne nzijukiramu bannaffe abaafa nga bagezaako okuggulawo ekifo kino ne nkidduka nga mpulira ntidde ate olwo ne nzira mu jaamu w’e Mukono - Kampala atalina ssuubi nti alikendeera.

nga tekinnaggwa era kino ky’ekikolebwako emirimu gy’ekifo. Bbiici yali ekyazimbwa naye nga tennaggwa wabula ekyo tekyandigaanye bali ba ssente kusanyukirayo kuba ebisinga biri ‘kkiriya’. Kiriko ebbaala n’emifaliso egiri mu bitundu eby’enjawulo omuntu kw’asobola okwewunzikako n’ebyesuubo ebyakolebwa mu busero era nga nabyo abaagalana basobola okubyebakamu nga bwe bibawuuba. Bwe nabadde nkomawo, nakizudde nti singa eryato lyatuuka ku K- Palm ne libbira nga lidda Kampala, abandiwonye bandibadde batono nnyo olw’amasanyu amangi ge bandisanzeeyo n’omwenge gwandibadde gususse gwe baali banywedde nga bagenda saako obukoowu bw’olugendo. Eryato tebandisobodde na kugezaako ‘kulibaalansinga’ nga bwe baafa bagezaako. Nnekanze obudde buwungedde nga n’enyanyaagize zitandise okukaabira mu miti emiwanvu egyetoolodde bbiici eno ne nzijukiramu bannaffe abaafa nga bagezaako okuggulawo ekifo kino ne nkidduka nga mpulira ntidde ate olwo ne nzira mu jaamu w’e Mukono - Kampala atalina ssuubi nti alikendeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Osire1 220x290

Bakutte abadde yeeyita dokita n'abba...

POLIISI eriko omusajja gw'ekutte abadde yeeyita omusawo mu ddwaaliro lya Kawempe National Refferal Hospital. Kigambibwa...

Gamba1 220x290

Eddy Kenzo akomyewo ku butaka:...

Eddy Kenzo akomyewo ku butaka: Bamwanirizza nga muzira

Mukadde1xx 220x290

Asobeddwa kibuyaga bw'asudde ennyumba...

Nanfuka agamba nti ennyumba yagudde ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde mu nkuba eyatonnye ng’erimu ne kibuyaga

Bpmutebipix 220x290

Omulabirizi Lubowa akyalidde Mutebi...

E Bungereza yayaniriziddwa Abakristaayo ne Rev. Nathan Ntege. Mu maka ga Ntege Omulabirizi Mutebi ne mukyala we...

Tta 220x290

Poliisi erambuludde engeri gy'okufunamu...

OLUVANNYUMA lw’omugagga Ali Jabar okuyingira n’emmundu mu ddwaaliro lya Kampala Independent Hospital n’agikwasa...