TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebbago ly’etteeka eriwera obusamise libasaanudde

Ebbago ly’etteeka eriwera obusamise libasaanudde

By Musasi wa Bukedde

Added 15th December 2018

Ebbago ly’etteeka eriwera obusamise libasaanudde

Deb3 703x422

Maama Fiina agambye nti tagenda kubivaamu.

OMUBAKA amalirizza enteekatela ez’okwanjula mu Palamenti bbago ly’etteeka eriwera abalago n’amasabo mu Uganda. Agambye nti kino akisazeewo oluvannyuma lw’okukola okunoonyereza n’azuula ng’obulogo n’amasabo bye bisinze okuvaako ekisaddaaka baana n’ekitta bantu ekyeyongera buli lukya mu ggwanga.

Omuabaka Bernard Atiku ssentebe w’akakiiko k’abaana mu Palamenti ebbago lino yalibaze ng’omuntu era ayagala lifuulibwe etteeka erigenda okulwanyisa ekisaddaaka baana n’ebikolwa ebyekuusa ku bulogo. Bino yabyogeredde mu lukiiko lw’okwebuuza ku bassentebe ba disitulikiti ez’enjawulo ku Lwokusatu n’ategeeza nti, ekisaddaaka baana kisinze kwegiriisiza mu disitulikiti okuli Busia, Nakasongola, Rakai ne Buikwe.

Yagambye nti, bw’ogoberera emisango egirimu ekisaddaaka bantu okwetoloola eggwanga, ojja kwesanga nga waliwo akakwate ku busamize n’amasabo abantu gye bagenda okwebuuza ku basawo b’ekinnansi era n’abaana gye babasaddaakira.

Kyokka yategeezezza nti, balina okutya nti ebbago lyandirinnyirira eddembe ly’obuntu ery’okusinza wabula n’agamba nti bwe liba ng’essabo lya kusinzizibwamu, wateekeddwa okubeerawo emitendera. Wabula abakulembeze ba disitulikiti abamu baagambye nti, wateekeddwa okuteekebwawo enjawulo wakati w’abasawo abavumuzi, abatabula eddagala n’abanyeenya ensaasi.

Baasabye yunivasite ez’enjawulo mu ggwanga okukola okunoonyereza okw’enjawulo okwawula abasawo b’ekinnansi ku basamize abanyeenya ensaasi kubanga abamu ku basamize beerimbika mu basawo buno.

Ebbago liraga nti, wadde waliwo etteeka erikugira ekisaddaaka bantu, etteeka eririwo linafu nnyo okulwanyisa ebikolwa bino. Okugeza enyingo (7) ey’etteka lino, yalangirirwa kkooti ensukkulumu nti, si ya ssemateeka kubanga ekontana n’akawayiro 21 aka ssemateeka era teyateekebwamu kuvunaana bantu basadaase bannabwe.

Ebbago lino we lijjidde nga poliisi y’e Mukono yaakamala okukwata abasajja basatu okuli; Abudallah Ssengendo 26, Swaib Zida 40 ne Livingstone Kiwanuka 19 abagambibwa nti, baawambye omwana Shafiq Kimera mutabani wa muliraanwa waabwe, Gertrude Nambooze ne bamusala obulago.

Robert Benon Mugabi ssentebe wa Rakai emu ku disitulikiti ezaanokoddwaayo mu bbago yagambye nti, balina okukkiriza kwamaanyi nti ekibonerezo ky’okufa Atiku kye yatadde mu bbago lyagenda okwanja mu palamenti, kijja kukanga ku bantu abasaddaaka abalala. “Emisango mingi egimanyiddwa n’egitamanyiddwa egifiiridde ku poliisi ne mu ofiisi z’abawaabi ba Gavumenti, etteeka bwe linaaba liyise, lijja kukangavvula ku bantu abo”, Mugabi bwe yategeezezza. Yagasseeko nti, ng’oggyeeko abawamba abantu okufuna ssente, ekisaddaaka bantu weekiri ate ng’ebikolwa bino ebisinga, byesigamiziddwa ku busamize.

ABASAWO B’EKINNANSI BAMWAMBALIDDE Sophia Namutebi ‘Maama Fiina’, pulezidenti w’ekiwayi ky’abasawo b’ekinnansi yagambye nti, eby’etteeka eriwera abalogo baabyogerayogera dda. Abantu bangi abazze balyogerako kubanga abasawo b’ekinnansi balwanyisibwa buli wamu.

Yagambye nti abasawo b’ekinnansi ba nnono n’obuwangwa. “Ne bwe bagamba nti bawera amasabo gaveewo mu ggwanga, nze Maama Fiina nja kusigala nga nzijanjaba abantu”, bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti, Palamenti kye yandibadde ekola, kulaba bakulira basawo ba kinnansi mu ggwanga ne babeebuuzaako okwawula omusawo omutuufu ku mukyamu naye si kuwera basawo bonna. “Emyaka nga ena oba etaano emabega nagenda mu palamenti ne mbagamba babage etteeka erigenda okutuyamba nga ffe abasawo b’ekinnansi okulwanyisa abafere abatwerimbikamu ne kibalema”, Maama Fiina bwe yagambye.

Yawadde ekyokulabirako nti, eggwanga libaddemu abantu abookya bannaabwe, abalala ne babatuga abamu ne babafumita ebiti mu mbugo e Nansana ne Katabi, eyali omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura n’awummuzibwa naye ebikolobero tebyaggwaawo n’agamba nti okuwera abasawo b'ekinnansi tekigenda kumalawo kisaddaaka bantu kubanga omuntu bw’omuwera ate by’asobola okukolera emabega ebibi biba bingi nnyo. “Kato Kajubi eyasaddaaka omwana yali musawo wa kinnansi?, waliwo omusawo e Nateete, Dr. Naddomi yasaddaaka omwana ekiwuduwudu ne bakisuula ku kkanisa ya Namutebi e Lusaze naye yali musawo wa kinnansi?

Bave ku basawo b’ekinnansi.” Maama Fiina bwe yagambye. Ssaabakabona Jjumba Aligaweesa akulira enzikiriza y’enono n’obuwangwa yagambye nti, abantu bonna mu ggwanga batambulira ku buwangwa okuwera abasawo b’ekinnansi kitegeeza kuwera ggwanga lyonna. “Obusawo bw’ekinnansi tekiri ku ddagala na misambwa kiri ku nnono na buwangwa bw’abantu gye basibuka”, Jjumba bwe yagambye. Yakkirizza nti, kituufu balinamu abantu ababi abeetaaga okukolebwako naye Gavumenti erina kukwatagana nabo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga

Hat13 220x290

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega...

Omuliro guzizza abasuubuzi emabega

Tum1 220x290

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi...

Ab’e Lwengo basattira lwa bubbi bw’ebisolo n’emmere