TOP

Ebyobugagga bya Muhangi bitabudde famire

By Meddie Musisi

Added 16th December 2018

WABALUSEEWO obutakkaanya obw’amaanyi mu famire y’omugenzi Charles Muhangi oluvannyuma lw’abaana abazaalibwa Nnamwandu omukulu okuzira emigabo gye baawereddwa mu mmaali ya kitaabwe ne beekubira enduulu mu ofi isi y’avunaanyizibwa ku by’abafu.

Jib2703422703422 703x422

Omugenzi Muhangi

Bino biddiridde aba famire okutuula nga December 10, 2018 mu maka g’omugenzi agasangibwa e Bumbaire mu Disitulikiti y’e Bushenyi ng’olukiiko lukubirizibwa Nnagagga Hassan Basajjabalaba eyakwasiddwa obuvunaanyizibwa olw’okulwanirira n’okulabirira eby’obugagga bya mukwano gwe Muhangi.

Olukiiko luno olwakulungudde essaawa ezasobye mu mukaaga, lwetabiddwamu Nnamwandu wa Muhangi Patience Mbabazi, abamu ku baana, abooluganda n’ab’emikwano abatonotono.

Muhangi yafa kibwatukira nga December 6, 2018 wabula teyaleka kiraamo, ekitegeeza nti ebyobugagga bye birina kuvunaanyizibwako akola ku nsonga z’abafu amanyiddwa nga Administrator General.

Kyokka aba famile nga bali ne Looya wa Muhangi baatudde enkeera ng’okuziika kuwedde ne bakkaanya eby’obugagga bw’omugenzi bigabanyizibwe mu baana 8, Nnamwandu, Maama wa Muhangi Angella Komuzaire Rwankore n’abamu ku baganda be (Muhangi) abamubadde ku lusegere nga Alex Katungye.

Nnamwandu azaala abaana abakulu teyaweereddwa mugabo gwonna. Muhangi yalese ebyobugagga okuli: bbaasi za Horizon musanvu, ebizimbe okuli ekisangibwa ku luguudo lwa Namirembe, ekirala ku William Street, amayumba g’abapangisa e Mbarara, amaka e Buziga ne Bushenyi n’ebyobugagga ebirala bingi.

Ekiwandiiko ekiriko omutwe “ Memorandum of Understanding”, ekyabagiddwa looya wa Muhangi, Paul Tusubira owa M/S Paul Tusubira&co.Advocates kiraga engabanya mu mmaali ya Muhangi.

Ekiwandiiko kisooka kukikaatirizza bulungi nga kyogera ku Nnamwandu Patience Mbabazi nga bwalina okufuna emigabo ebitundu 10% ku buli kya bugagga bwa bba.

Kyongera ne kimenya abaana ba Muhangi munaana n’emigabo buli omu gy’alina okufuna ku bugagga bwa kitaawe bwe kiti: Ryan Nsingwire Muhangi 9% Keisha Samalie Muzaire Muhangi 9% Shane Beine Muhangi 9% Jake Rwakasimba Muhangi 9% Zoe Kabishiki Muhangi 9% Lionel Muhangi 9% Oscar Raymond Muhangi 9% Mirembe Sarah Muhangi 9% Abalala abalina okufuna emigabo ku mmaali ya Muhangi kuliko, muganda we Alex Katungye 9% ne nnyina wa Muhangi, Angella Komuzaire 9%.

Okusinziira ku kiwandiiko kino, ssinga wanaabaayo eby’obugagga by’omugenzi ebirala byonna ebinaaba bizuuliddwa oluvannyuma, byonna bijja kuweebwa Nnamwandu Mbabazi.

Okusinziira ku nsonda ezesigika mu famire ya Muhangi, oluvannyuma lwa looya okubaga ekiwandiiko kino, yakisomedde mu babadde mu lukiiko era bonna ne bakiyisa n’oluvannyuma ne bakiteekako omukono okwabadde ne Basajjabalaba.

ABAANA ABAKULU BASITUDDE ENKUNDI

Wabula abaana abakulu abazaalibwa Nnamwandu omukulu beekubidde enduulu ew’avunaanyizibwa ku nsonga z’Abafu mu disitulikiti y’e Bushenyi nga bagamba nti ebyakoleddwa okugaba emmaali ya kitaabwe tebakkaanya nabyo era bimenya mateeka.

Okusinziira ku mukungu Betty Karungi Gafabusa ow’omu ofi - isi y’avunaanyizibwa ku nsonga z’abafu e Bushenyi, abaana babiri beekubidde enduulu nga baagala ofi isi eyo eyingire mu nsonga.

Yategeezezza nti abaana baalumirizza Nnamwandu omuto Patience okwekobaana n’abamu ku ba famire ne beegabanya mu by’obugagga by’omugenzi nga tebagoberedde mateeka.

Gafabusa yagambye nti ofi isi ya CAO e Bushenyi yaweereddwa obuvunaanyizibwa okukola entegeka okulaba nti tewabaawo kwegabanya mu bintu by’omugenzi mu ngeri etali mu mateeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...