TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaserikale balumbye owa Mobile Money ne bamubba obukadde 40

Abaserikale balumbye owa Mobile Money ne bamubba obukadde 40

By Musasi wa Bukedde

Added 16th December 2018

ABASERIKALE basatu okuli ab’amagye ne Poliisi batadde omuwala akola ku Mobile Money ku mudumu gw’emmundu ne bamubbako ssente eziteeberezebwa okubeera mu bukadde 40.

Kuba 703x422

Abamu ku baserikale be baakwatidde mu bubbi.

Omuwala ono Janat Kobusingye alina akayumba ka Mobile Money ku Mabua Road okuliraana ekitebe kya poliisi y’ensi yonna e Kololo era wano abaserikale we baamuzingirizza ng’obudde butandise okukwata ne bamussa ku mudumu gw’emmundu ne bamubbako ssente ezaabadde zipakiddwa mu kibookisi ng’ateekateeka okuzitwala okuzitereka.

Abaakwatiddwa kuliko ow’amagye Fred Asiimwe omutuuze w’e Kawempe ne Ashiraf Twesigye ow’omu Industrial Area.

Bano baabadde n’emmundu gye baabadde batambuliza mu kasawo akamyufu.

Okusinziira ku sitaatimenti Kobusingye gye yakoze ku poliisi ya Jinja Road, ababbi baabadde batambulira ku bodaboda ng’omu alina emmundu era yagibuseeko omulundi gumu naagimusongamu n’amugamba amuwe ssente zonna.

Kobusingye agamba nti, mu kutya, yabasongedde ku kibookisi omwabadde ssente nga tannaba kuzibala ne bakuuliita nakyo.

Yakubye enduulu aba bodaboda ne beekolamu omulimu ne bagoba ababbi bano ne babakwata ne babasuuza n’emmundu nnamba UG-POL 56767107343.

Kyategeerekese nti, ya poliisi era n’abaabadde mu bubbi buno, baserikale ba poliisi n’omujaasi wa UPDF.

Aba bodaboda baakutteko ababbi babiri ne babakwasa abaserikale abakuuma ku kitebe kya poliisi y’ensi yonna n’ezimu ku ssente ze baabadde babbye.

Kyokka kigambibwa nti, omu eyadduse, ye yabadde ne ssente ennyingi nga poliisi ekyamuyigga. P

oliisi ya Jinja Road yayitiddwa okukola okunoonyereza era fayiro CRB 1057/2018 n’eggulwawo ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Poliisi era yazudde ezimu ku ssente ezaabadde zibbiddwa 914,700/- ze baasanze n’omu ku babbi n’emmundu yabaggyiddwaako ng’ejjudde amasasi.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Lucas Owoyesigyire yagambye nti, balina abantu babiri be baakwatidde mu bubbi ng’omu muntu wa bulijjo ate omulala w’amagye.

Yagambye nti, baasazeewo okubakwasa UPDF bavunaanibwe mu kkooti y’amagye.

Yagaseeko nti, eyadduse bagezaako okumuyigga wabula tamanyi oba naye mujaasi oba wa poliisi.

Omwogezi wa UPDF, Brig. Richard Karemire yagambye nti, tebasobola kwebeera bantu basiwuuka mpisa kubanga ekitongole kye bakoleramu kinene nnyo kyokka n’ategeeza nti, bwe bakwata omuntu asiiwuuse empisa, amateeka gamukolako era omujaasi eyakwatiddwa mu bubbi n’aba poliisi, baakukangavvulwa mu kkooti y’amagye.

ABASERIKALE ABAZZE BAKWATIBWA MU BUBBI

January 18, 2018: Poliisi y’e Masindi yakwata omuserikale waayo eyali akolera mu kitongole ekikakkanya obujagalalo nga kigambibwa nti yali ku kibinja ky’ab’emmundu abaalumba eggombolola y’e Budongo ne banyagulula abantu.

October 12, 2018: Eyali akulira poliisi y’e Kikumbi, ASP Godson Bishaka Thobias Turyabaruhanga ow’e Ntebe ne Benjamin Muzoora baakwatibwa n’omuntu omulala e Buziga nga bagenze okubba munnansi wa Congo. Emmundu gye baali bakozesa yali ya poliisi ng’erimu amasasi 29.

September 18, 2018: Ekitongole kya poliisi ekirwanyisa abazigu ab’emmundu ekya Flying Squad kyakutte abaserikale babiri Arthur Murithi, ne Felix Kipkurui Korir olw’okwekobaana n’abantu ba bulijjo abalala musanvu ne banyagulula amaka g’omugagga.

May 18, 2018: Ali Kabula eyali akolera ku poliisi y’e Bweyogerere abatuuze b’e Naluvule e Luweero baamukwata nga bamuvunaana okukola loodibulooka ng’ali n’abasajja abalala basatu ne babba ssente obukadde bubiri ku mukozi wa kkampuni ya BIDCO.

July 7, 2009: ASP John Okwir eyali akolera ku poliisi y’e Busia yakwatibwa olw’okupangisa emmundu ye ababbi ne bagikozesa mu bubbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup