TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannamateeka ba Bobi Wine bambalidde Gav't olw'okuyigganya omuntu waabwe

Bannamateeka ba Bobi Wine bambalidde Gav't olw'okuyigganya omuntu waabwe

By Muwanga Kakooza

Added 16th December 2018

Bannamateeka ba Bobi Wine bavumiridde ekya poliisi okuyigganyanga omuntu waabwe ne bagamba nti bali mu kukunŋŋaanya bwiino yenna akwata ku nsonga zino era abali emabega wabyo bonna bagenda kuddiramu ebikolobero bye bakoze.

Jsjsjsj 703x422

Bobi Wine ne bannamateeka be aba Amsterdam & Partners LLP

Mu kiwandiiko bannamatteeka ba Bobi Wine ab’ekibiina kya ‘Amsterdam & Partners LLP’’ kye bafulumizza nga basinziira e Bungereza baategeezezza nti omuntu waabwe yekweese olwa poliisi okwagala okumuzingako ng'agenze okukola ekivvulu e Jinja era abawagizi be bangi bakwatiddwa.

Kino kyabaddewo poliisi bwe yegezezaaako okuzingako Bobi Wine ng'ali mu kivvulu e Jinja n'adduka ne yekweeka n'elyoka ekwata abawagizi n'abantu abalala abaabadde bazze mu kivvulu.

Munnatteeka  Robert Amsterdam yagambye nti yabadde awuliziganya ne Bobi Wine ng’akyekkukkumye kyokka okukwatibwa kwe kwabadde kumenya amatteeka kuba ekivvulu kye yabadde agenda okuyimbiramu poliisi yasoose kukikkiriza era ng’ababadde baagala okumukwata baabadde tebalina musango gwe bamuvunaana.

‘’Kino kikolwa kya nkukunama ekiraga nti abali mu buyinza mu Uganda beeyambisa mbeera eno okutyoboola eddembe lya Bobi Wine olw’ensonga z’ebyobufuzi.Bobi Wine talina tteeka lye yamenye kuba ekivvulu kye kyabadde agenda okuyimbiramu kyabadde kikiriziddwa poliisi era abayimbi abalala teri yabakutteko’’ Armsterdam bwe yagambye.

N’agamba nti kino kimujjukiza engeri Bobi Wine kye yakwatibwako nga August 14 (mu Arua) n’atulugunyizibwa eggye erikuuma Pulezidenti. N’agamba nti ab’obuyinza mu Uganda basanidde okukolaba ng’embeera eno ekoma mbagirawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det1 220x290

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa...

Jamil Mukulu asabye okweyimirirwa

Nom1 220x290

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya...

Poliisi etaddewo ebiragiro ebipya ku bidduka

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka