TOP

Kalidinaali ajaguzza emyaka 92

By Ponsiano Nsimbi

Added 17th December 2018

ABANTU ab’enjawulo bakyagenda mu maaso n’okweyiwa mu maka ga Kalidinaali Emmanuel Wamala e Nsambya okumuyozaayoza n’okumukulisa okutuuka ku mazaalibwa ag’emyaka 92.

Lwa 703x422

Kalidinaali (wakati), Sekandi ne Msgr. Kasibante nga basala keeki.

Obubaga obumuyozaayoza bwagguddwawo ku Lwomukaaga e Nsambya n’ekijjulo ky’ekyemisana ekyategeddwa famire y’Omulangira Edward Nakibinge.

Ekijjulo kino kyetabiddwaako abantu batono okwabadde n’omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Ssekandi ,Vicar Genero wa Kampala asooka, Msgr. Charles Kasibante, Fr. Paul Mugerwa dayirekita w’ekifo awalabirirwa bannaddiini abakadde e Nsambya n’abalala.

Kalidinaali Wamala yagabudde abagenyi be ekyemisana n’oluvannyuma n’asala kkeeki ng’ali wamu n’amyuka Pulezidenti, Ssekandi ne Mgsr. Kasibante era n’agabula abagenyi be.

Yasiimye Omulangira Nakibinge olw’okumulowoozaako n’amutegekera akabaga kano n’abaamusabidde okutuuka ku lunaku luno.

Ssekandi yakulisizza kalidinaali okutuuka ku lunaku luno n’ategeeza nti bingi byakoledde e Kelezia n’eggwanga bye tusaana okumuyigirako.

Omulangira Nakibinge yategeezezza nti y’omu ku bamaze akabanga nga yeetaba ku mazaalibwa ga Kalidinaali era kwe kusalawo omwaka guno amutegekere akabaga ng’amukulisa n’okusiima ebirungi by’akoledde Eklezia.

Fr. Paul Mugerwa eyayogedde ku lwa bannaddiini yeebazizza Katonda olw’ebirungi by’akoledde Kalidinaali naddala okumuwangaaza.

Kalidinaali akabaga yakamazeko essaawa emu yokka n’awa abagenyi be omukisa n’abasibula.

Wabula eggulo bazzukulu be nabo baamwegasseeko mu maka ge e Nsambya okumukulisa era nabo n’abagabula ekijjulo.

EBYAFAAYO BYA KALIDINAALI

  • February 8, 1990 yalondebwa okudda mu bigere bya Ssaabasumba Emmanuel Nsubuga.
  • November 22, 1981 yatuuzibwa ng’omusumba w’Essaza lya Kiyinda Mityana.
  • December 21, 1957 yafuna obusosorodooti.
  • Yazaalibwa December 15, 1926 e Kamaggwa Masaka
  • Yafuna obudyankooni nga August 15, 1957 e Masaka
  • July 17,1981, yalondebwa ng’omusumba w’Essaza lya Kiyinda Mityana.
  • June 21, 1988 yalondebwa okukola nga ssaabasumba w’Essaza ekkulu erya Kampala.
  • November 1994, yalondebwa era n’atuuzibwa ku bwa Kalidinaali bwa Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...