TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebizuuse ku mbaga eyabaddeko okwekuba ebikonde e Nateete

Ebizuuse ku mbaga eyabaddeko okwekuba ebikonde e Nateete

By Musasi wa Bukedde

Added 17th December 2018

EBIKONDE n’ebigwo bye byasoose nga Mukyalamukulu awakanya ekya bba okugattibwa mu bufumbo obutukuvu ne mukyala muto.

Funa 703x422

Olutalo wakati wa bakazi baggya lumaze emyaka egisukka mu 20 era entikko yaalwo yabadde ku Kkanisa ya Makaayi e Nateete ku Lwomukaaga.

Muzeeyi Erisa Ssettuba 78, ebintu byamutabuseeko nga mukyalamukulu Betty Nakityo amusika amuzza Kawanda gye babeera, ate ng’abooludda lwa mukyalamuto Martha Teopista Nakakooza bamusika bamuzza mu Kkanisa, embaga ereme kufa.

Nakityo yabadde n’abamu ku baana omunaana be baazaala ne Ssettuba be baasose ku Kkanisa era emmotoka omwabadde Ssettuba olwatuuse, ne bagenda butereevu okusikayo Ssettuba bamuzze eka nga bwe balayira nti, “Ka gwake, k’etonnye, eno embaga teriiyo!”

Bestman James Nsubuga naye yasimbye nnakakongo era awo olutalo we lwatandikidde era Bestman baamusottedde wansi ne bamuleka awo ne bakunguzza Muzeeyi Ssettuba ne bamuyingiza emmotoka y’abaana be abakulu bamuzze e Kawanda.

Abooludda lwa Nakakooza (omugole omukyala) nabo baasaze mangu amagezi ne baleeta emmotoka endala ne bagikiika mu mulyango ne ggeeti y’Ekkanisa ne bagiggala; olwo emmotoka eyabadde ebuzaawo Ssettuba n’ebula w’eyita.

Abaabadde mu Kkanisa baavuddeyo ne beegatta mu lutalo era ne basinza oludda lwa Nakityo amaanyi.

Emmotoka Nakityo mwe yabadde baagiggyeemu omukka ne bagikoona n’endabirwaamu okutuusa lwe baggyeemu Ssettuba eyabadde takyafaananika.

Baayambiddwaako amagye ne poliisi agaatuuse mu bwangu okukkakkanya embeera.

Oluvannyuma lw’olutalo, omugole omukazi yatuuse era Ssettuba ne Bestman ne beerongoosa ne bayingira Ekkanisa ne babagatta wakati mu by’okwerinda ebyabadde binywezeddwa.

Mu kiseera ekyo Nakityo n’abaana baabadde batwaliddwa e Nateete ku poliisi okukola siteetimenti era baagenze okubimaliriza ng’okugatta kuwedde.

EYAGASSE ABAGOLE AYOGEDDE

Rev. Abraham Lubega Kisaakye ow’Ekkanisa ya Nateete Mackay C.O.U yategeezezza nti Erisa Ssettuba ne mukyala we Nakakooza baabatuukirira ne beewandiisa nga baagala okugattibwa mu bufumbo obutukuvu era ne baweereza ebirango byabwe mu Kkanisa ya St. James Kawanda ebatwala ne birangibwa ne biggwaayo nga tewali avuddeyo kuwakanya kugattibwa kwabwe.

Yagambye nti kkanisa teyinza kumanya buli kimu ekikwata ku bantu baagala kugattibwa naddala singa balangibwa ne watavaayo muntu n’omu awakanya kugattibwa kwabwe.

Yayongedde nti ebyabaddewo ku Lwomukaaga babadde tebabisubira era y’ensonga lwaki embeera bwe yakkakkanye emikolo gyasobodde okugenda mu maaso nga bamaze okutunula mu nsonga ne bakizuula nti okubagatta tekimenya mateeka ga Kkanisa era tekimenya mateeka ga nsi.

Kyokka kino Nakityo yakiwakanyizza ng’agamba nti baatwala ebbaluwa eyava e Namirembe ng’eyimiriza embaga era ne bagitwalira abaddukanya Ekkanisa e Nateete ku Lwokuna, kyokka tebaawulirizibwa era baasooka kubategeeza nti embaga eyimiridde, wabula ne babayita emabega ne bagenda mu maaso n’enteekateeka.

Nakityo yabadde agamba nti yayanjula Ssettuba mu 1974 era balina empapula ezikakasa ekyo era ng’agamba nti kikyamu ate okufumbiriganwa n’omukyala omulala.

Kigambibwa nti baali baakubagattira Kawanda kyokka bwe beekengera olutalo, kwe kusaba ow’e Kawanda abasindike e Nateete babagattire okumpi n’ekifo we baabadde bategese okusembereza abagenyi ekya Martyrs Church Busega.

Munnamateeka Luyimbaazi Nalukoola yagambye nti Nakityo bw’aba alina ebiwandiiko ebiraga nti okwanjula kwaliwo era ne kuwandiisibwa mu kitongole ekiwandiisa obufumbo, asobola okugenda mu kkooti n’awakanya obufumbo obwo; kyokka bw’aba talina bujulizi bulaga nti okwanjula kwaliyo yakoze ensobi okugezaako okutaataaganya emikolo.

EBIRI EMABEGA W’OLUTALO

Nakityo yategeezezza nti bba alina abantu be yayise “Bamafi a” abaamuyingizza eby’okugattibwa ne Nakakooza nga kye babala kwefunza byabugagga naddala ettaka omwami ly’alina.

Yagasseeko nti bba bazze bamutunza ettaka nti era n’ettaka kwe bali e Kawanda baamumatiza n’atundako ekitundu era ssente ne batwalako ekitundu.

Yagambye nti bba olumu yamugamba nti ettaka lyabwe n’amayumba e Kibuye alitaddemu abapangisa, wabula agenda okukizuula ng’awasirizzaamu omukazi nnamba bbiri. Margaret Nalele nnamba bbiri yabaddewo mu Kkanisa mu kugatta.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...