TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni atikkidde abavubuka n’abakyala mu Wakiso n’abasuubiza obukadde 500

Museveni atikkidde abavubuka n’abakyala mu Wakiso n’abasuubiza obukadde 500

By Lawrence Kitatta

Added 17th December 2018

PULEZIDENTI Museveni asabye Bannayuganda okwenyigira mu mirimu egikola ssente okusobola okwekulaakulanya n’okwongera ku nfuna yaabwe.

Seka 703x422

Pulezidenti ng’akwasa abamu ku bayizi amabaluwa gaabwe. Ku kkono ye Minisita Ssenninde.

Bino yabyogeredde Namboole ku Lwomukaaga ku mukolo kwe yafulumirizza abavubuka n’abakyala 9,620 abaakuguse mu mirimu egy’enjawulo okuva mu bitundu eby’enjawulo mu Wakiso.

Baabadde basomesebwa okuyita mu nteekateeka y’omubaka wa disitulikiti omukazi eya, Seninde Foundations.

Baakuguse mu kutunga, okufumba, okusiba enviiri, okulunda n’ennima ey’omulembe, okubajja n’ebirala.

Museveni olwamaze okubalangirira n’okubakakasa nti bakuguse mw’ebyo bye basomye, yabalagidde okuteekawo ekibiina ekibagatta n’ensawo gy’agambye nti agenda kubateeramu obukadde 500 bazeewole ku magoba amatono zibayambe okutandikawo emirimu.

AMAKA MATONO AGAKOLA EBIVAAMU ENSIMBI

Pulezidenti alaze obwennyamivu nti amaka mangi gali mu tulo era gasaana okuzuukuka, “Okubala abantu okuzze kukolebwa mu ggwanga kulaga nti amaka 32 ku buli 100 ge geenyigira mu kulima okukola ssente, 68 ku 100, galima mmere ya kulya waka, wano bwe kuba kutambula tukongojja era tewali lugendo.

Yeebazizza omubaka Rosemary Seninde olw’omulimu gw’akoze okuggya ab’e Wakiso mu tulo ng’abayigiriza emirimu egy’enjawulo.

MUWAGIRE EBIKOLEBWA WANO

Yagambye nti bwe weetunuulira ku mubiri gwo kumpi buli ky’oyambadde kiva bweru essaati eva China, esaawa, engatto, enviiri z’abakyala ku mitwe n’ebirala naye nga waliwo ebisobola okukolebwa wano e Jinja.

Abasabye okwettanira ebikolebwa wano kuba ababikola bayigiriziddwa. Basobola okukola amasweta kuba ppamba akolebwa Jinja.

Basobola okumukolamu wuzi ezikola engoye n’amasweta ge basobola okuluka olwo Bannayuganda ne bava ku bikolebwa wabweru.

ALAZE AWANAAVA SSENTE BANNAYUGANDA WE BALINA OKWEKWATA

Museveni yagambye nti mu kiseera kino, obukodyo obukola ssente buli buna era singa Bannayuganda babwekwata bajja kulinnyisa ebyenfuna mu maka gaabwe.

Mu bino mulimu, obulimi, obulunzi n’obuvubi obukola ssente kuba akatale weekali ate kanene.

Amakolero nago kkubo erinaggya Bannayuganda mu bwavu naddala ago agatali makolero manene.

Temwerijja ku makolero manene. Singa okola ebyokunywa, juyisi, okulongoosa amata, ne muvaamu omuzigo, okubajja, okutunga engoye, okusa obuwunga, okukola amasweta n’ebirala.

Singa mubyekwata ne mwegatta wamu ku magombolola nja kubagulira ebyuma mbiweereze ku magombolola mubikozese ku bwereere.

Pulezidenti yagambye nti ebirala ebikola ssente mulimu obuweereza okuli ebyemizannyo, okuyimba, okubuulira enjiri, ebyentambula, wooteeri n’ebirala.

Yasabye Bannayuganda beekwate tekinologiya olw’ebirungi byalina nga yintaneeti.

Yagambye nti bangi basobola okukuwa emirimu egy’enjawulo ng’ogikolera ku byuma bikalimagenzi ng’okubala ebitabo n’ebirala n’agamba nti singa bino Bannayuganda babyekwata bajja kugenda mu maaso mu byenfuna.

Minisita Senninde yategeezezza nti akyusizza obulamu bw’abavubuka abasoma ku mitwalo ebiri era ng’akyayambako okyukyusa abavubuka abawerako.

Yasabye Pulezidenti okubakwatirako mw’ebyo ebibasoomooza omuli obutaba na misaala gisasula basomesa n’ebikozesebwa ebitono kwe basomera.

Seninde yategeezezza Pulezidenti nti abantu bonna amaze okubakolamu omulimu naye beetaaga entandikwa ebatwala mu maaso era wano we yamusabidde okussaawo ensawo abateeremu obukadde 500 ez’okwewola ku magoba amatono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...