TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Dr. Kizza Besigye ebya ‘Twebeereremu’ bimwokezza

Dr. Kizza Besigye ebya ‘Twebeereremu’ bimwokezza

By Josephat Sseguya

Added 18th December 2018

EBIGAMBO Dr. Kizza Besigye bye yayogedde ng’alumba ehhombo ya Bobi Wine eya “Twebeereremu” bimwokezza n’abimenyawo.

1544977323162491 703x422

Besigye ne Bobi Wine

Besigye yalabikidde mu katambi ng’alabula ku by’okusosola mu mawanga n’agamba nti n’ehhombo ezimu bw’azeetegereza obulungi zirimu obusosoze mu mawanga ekijja okutwala eggwanga mu kaseera akazibu n’anokolayo “Twebeereremu”.

Mu katambi, Besigye agamba nti: Ennaku zino owulira nga ne mu njogera waliwo ebigambo ebyogerwa by’olaba nga birina amakulu agali ku mawanga nga Twebeererewo, Twebeereremu, n’osigala nga weebuuza nti b’ani? Baffe! Ebintu bino bijja mpola mpola naye ng’akabi akabivaamu kayitirivu nnyo.

Era bwe tutaabirwanyisize kumpi, bisobola okusaanyaawo eggwanga. Besigye okubyogera, yabadde asisinkanye abakulira ekibiina kya FDC mu Kampala ku Lwomukaaga era yagambye nti enjogera ya Twebeereremu, ekozesebwa abamu okukunga abantu okufuna obuwagizi ng’ate esosola mu mawanga ekiyinza okuleetera eggwanga obuzibu.

Akatambi olwatandise okusaasaana, abantu ne balumba nnyo Besigye ng’abamu bagamba nti teyategeera makulu ga “Twebeereremu”, kyokka abalala nga bagamba nti bye yayogedde yabadde abyolekeza bantu ba Buganda nti b’alowooza nti enjogera eyo b’etambulirako ne Bobi Wine gwe baayogeddeko nti gwe yeeraliikirira olw’obuwagizi obungi naddala mu Buganda.

Abalala naddala ku mikutu gya Facebook ne WhatsApp baatuuse n’okukissa ku Besigye nti bye yayogedde biraga nti alina kampeyini ey’okukakasa nti teri wa ludda luvuganya wa maanyi ava mu kitundu kya Uganda kirala.

Abalala baamulumbye nti tayagaliza Robert Kyagulanyi (Bobi Wine) kuvuganya ku Bwapulezidenti mu kulonda okujja. Ebintu bwe byalinnye enkandaggo, Besigye yavuddeyo ne yeetonda olw’enjogera ya Twebeereremu era n’ayita ku mukutu gwe ogwa “Twitter” n’agamba nti: Ekindeese kati, ky’ekigambo “Twebereremu” kye mpulidde bangi bakozesa okwongera okusaasaanya obusosoze mu mawanga.

Nkitegeddeko nti bangi bakikozesa okulowoozesa abantu nti nabadde nnumba Bobi Wine nti kubanga atera nyo okukikozesa.

Nze ku lwange simuwulirangako ng’akikozesa mu ngeri enkyamu wabula nneetonda ku lw’abo bonna abaakitutte nti gwe nabadde njogerako.

Yayongedde okulambulula nti: Ebigambo ebimu bikyuka amakulu ng’ate si ky’ekigendererwa ekyabiteesaawo.

Omwo mwe muli n’akalango ka Bosco akaatandika nga kategeeza kirala naye kati Bosco bw’okyogera abantu era bategeeramu kirala’’.

BOBI WINE AYOGEDDE

Bobi Wine bwe yatuukiriddwa yagambye nti, ebigambo bya Dr. Besigye akyabyetegereza kubanga naye kennyini tannamanya nnyo Besigye kye yabadde ategeeza.

Yagambye nti akyetaaga okulaba akatambi akajjuvu okutegeera ekituufu. Kyokka yawabudde nti ekigambo “Twebeereremu” akikozesa nnyo okutegeeza buli Munnayuganda nti alina okubaako ky’akola ng’omuntu, embeera okukyuka; aleme kulinda bantu balala.

Yagambye nti mu njogera eyo temuli kusosola mu mawanga era yoomu ku bantu abaludde nga bakunga Bannayuganda abaagala enkyukakyuka okubeera obumu awatali kwesosola mu ddiini, amawanga n’endowooza z’ebyobufuzi kubanga ebizibu ebinyiga abantu tebisosola, bibanyiga kyenkanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.