TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmotoka ya poliisi esse omuntu n’eziba oluguudo

Mmotoka ya poliisi esse omuntu n’eziba oluguudo

By Musasi wa Bukedde

Added 18th December 2018

LOOLE ya poliisi ebadde ku misinde eremeredde omugoba waayo n’eyingirira mmotoka ya buyonjo ey’ekika kya Subaru Forester UAV 906 J n’egitomera n’etta ddereeva waayo n’okulumya omuntu omulala agibaddemu.

Ddusa 703x422

Abantu nga batunuulira kasiringi ya poliisi eyagudde mu luguudo wakati.

Poliisi ereese kasiringi yaayo okugiggyawo kyokka mu kugisitula ate nayo n’egwa ekigwo wakati mu luguudo n’eruziba ekyasannyalazza ebyentambula okumalira ddala essaawa nga nnya.

Akabenje kano kaagudde Kitega okumpi n’ekibuga Lugazi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja ku ssaawa 6:30 mu kiro ekyakeesezza Mmande.

Omugenzi Jimmy Alori abadde mukozi wa kkampuni ya SCOUL e Lugazi nga mutuuze w’e Bulyanteete mu Divizoni y’e Kawolo mu Lugazi Municipality mu Disitulikiti y’e Buikwe.

Jimmy yabadde eva ku ludda lw’e Kampala ng’adda Lugazi ng’ate loole ya poliisi UP 2372 eyabadde avugibwa Sgt. Eliot yabadde eva ku ludda lw’e Jinja ng’edda Kampala.

Poliisi yakolaganye ne kkampuni ya SCOUL n’ebaweereza ttulakita eyabayambye okusitulawo Kasiringi kyokka nga nakyo kyatutte ekiseera ekiwerako.

Akulira Poliisi y’ebidduka mu Kitundu kya Ssezibwa, Israel Wambesyo akakasizza akabenje kano n’agamba nti baatandise dda okunoonyereza kwe kaavudde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga