TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Bbanka Enkulu tebamatizza babaka ba palamenti ku by’okutunda bbanka

Aba Bbanka Enkulu tebamatizza babaka ba palamenti ku by’okutunda bbanka

By Musasi wa Bukedde

Added 18th December 2018

ABAKULIRA Bbanka Enkulu balaze engeri gye baateeka obuwumbi 457 mu Crane Bank eyaggalwa nga yeetaaga obuwumbi 157 okusobola okudda engulu.

Governorbankofugandatumusiimemutebilerightandthedeputygovernorlouiskasekendeappearbeforecosase 703x422

Gavana wa Bbanka Enkulu, Emmanuel Mutebile ng'ali mu kakiiko ka COCASE mu Palamenti

Ebiwandiiko bya Bbanka Enkulu ebyaweebwa ababaka abatuula ku kakiiko akanoonyereza ku mirimu gy’ebitongole bya Gavumenti aka COSASE biraga engeri obuwumbi 457 gye zaasaasaanyizibwa ku mirimu egyenjawulo.

Kkampuni ya KPMG eyakola ku bya tekinologiya yasasulwa obukadde 438, ssente ezisoba mu bukadde 720 zaasasulwa ku mirimu egyenjawulo, obukadde 914 zaasasula kkampuni ya bannamateeka eya MMAKS era nga kkampuni y’emu yasasulwako obuwumbi busatu omulundi gumu n’e ssente endala ne zisaula kkampuni embalirizi y’ebitabo eya PWC, bannamateeka, ba Semaganda, abakuumi aba Ultimate, Meridian n’abalala.

Kyokka enyinyonnyola ya Bbanka Enkulu teyamatizza babaka kuba ssente ezaabadde zoogerwako nga tebalaga bukakafu nti zaakola emirimu gye boogerako.

Edward Katimbo Mugwanya, eyalondebwa Bbanka Enkulu okuddukanya Crane Bank yalagiddwa okuleeta embalirira ya ssente ezaateekebwamu.

Wadde yabadde alumiriza nti ebiwandiiko weebiri baamulemeddeko aleete bwiino omulala.

Ababaka beesigama ku lipooti y’omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti eyalaga emivuyo egyakolebwa mu kutunda bbanka ya Cooperative Bank, Global Trust Bank, Greenland Bank, International Credit Bank, National Bank of Commerce ne Teefe Trust Bank.

Lipooti y’omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti eraga nti bwe yayogera n’abakulira Bbanka Enkulu baalemwa okumumatiza ku kye baakolawo okuzza Crane Bank engulu era nga ne ssente obuwumbi 478 tebaamulaga bwiino alaga engeri gye zaasaasaanyizibwamu.

Ababaka era beewuunyizza bwe beetegerezza obutambi obwabaweereddwa aba Bbanka Enkulu okuli ebikwata ku by’obugagga bya Crane Bank ne bakizuula nti akawunti z’amabanja 4458 buli emu yabadde yeewolerwako abantu abawera omunaana, ekintu ekitakkirizibwa mu mateeka.

Ssentebe w’akakiiko, Abdu Katuntu yategeezezza nti bwe beetegerezza akatambi okubaweebwa okuli amabanja ga Crane Bank gonna baakizudde nti waliwo akawunti ezimu ezifaanagana nga zaasangiddwa kuliko abantu abawera nga beewolerako ssente.

Aba Bbanka Enkulu baasuubizza nga bwe bagenda okuddayo beetegereze awayinza okuba nga we waava obuzibu era nga baasuubizza nti we banaakomerawo bajja kuba bazudde ensobi we yava.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano