TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bateeze omukozi wa yunivasite ne bamutema ebiso ne bamutta

Bateeze omukozi wa yunivasite ne bamutema ebiso ne bamutta

By Paddy Bukenya

Added 18th December 2018

ABAZIGU bateeze omukozi wa yunivasite e Nkozi ne bamutema ebiso omulambo ne bagusuula mu mwala.

Kola 703x422

Abamu ku booluganda lwa Byakatonda nga baazirana.

Dominiko Byakatonda 55, omukozi wa yunivasite y’e Nkozi mu Mpigi yattiddwa abazigu abatannategeerekeka bwe baamuteeze ng’anaatera okutuuka ku kkubo erikyama ewuwe ne bamutema ebiso ku mutwe oluvannyuma omulambo ne bagusuula mu mwala okumpi ne poliisi y’e Nkozi.

Abantu abaabadde bayitawo ku makya be baalabye ekitaba ky’omusaayi we baamuttidde mu kkubo.

Baagenze okulaba nga baamukuludde ne bamusuula mu mwala gw’amazzi.

Baayita poliisi y’e Nkozi n’eggyawo omulambo ne gutwalibwa mu ddwaaliro e Gombe okwekebejjebwa.

Abatuuze baategeezezza nti abaamusse tewaliiwo kye baamuggyeeko ku bintu bye yabadde nabyo mu nsawo ekiraga nti bandiba nga baabadde bajjiridde kusanyaawo bulamu bwe.

Wabaddewo abagamba nti gye buvuddeko omugenzi Byakatonda alina ababbi b’ente be yalonkooma era ne bamwewerera nga bano bateeberezebwa okuba nga be baamukozeeko ettemu lino.

Ssentebe w’ekitundu kino Denis Ssebuufu ategeezezza nti omutuuze we abadde mu nnadiini era nga y’ayimbisa mu Klezia e Nkozi era nti tabadde na mutawaana na mutuuze yenna ku kitundu.

Wabula nabo bakyasobeddwa eyamukozeeko ettemu lino. Yayongeddeko nti omugenzi baasoose kumutema biso mu mugongo olwo n’agwa wansi ne bamutema ebirala ku mutwe n’okumukuba akayondo ku liiso ne lyatika.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Mpigi, Andrew Ainembabazi ategeezezza nti poliisi ebakanye n’omuyiggo gw’abatemu bano kyokka n’asaba abantu okukomya okutambula ekiro naddala mu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....