TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba bizinensi z'ebyobulambuzi Gav't ebasonyiye emisolo

Aba bizinensi z'ebyobulambuzi Gav't ebasonyiye emisolo

By Muwanga Kakooza

Added 18th December 2018

OMUMYUKA w’akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kutumbula eby’obulambuzi ekya " Uganda Tourism Board’’ Mw. John Ssempeebwa abuuliridde Bannayuganda ssekinnoomu okutandika okukulaakulanya ebifo by’obulambuzi ebibariraanye ng’agamba nti bisobola okubaleetera ssente ne bava mu bwavu bwe bakaaba.

Ssempeebwa1 703x422

Ssempeebwa era yawabudde nti abatandika kkampuni ezirambuza abalambuzi tebaggyibwako musolo gwa layisinsi  n’agamba nti bizinensi nga zino ze zimu ku bavubuka ze basaanidde okweyunira kuba teziriiko bukwakulizo bungi nga zitndikibwa.

Yabadde ayogera eri bannamawulire ku Media Centre mu Kampala n’awa eky’okulabirako nti ebifo ng’omuti omulambo gw’eyali ‘katonda w’entalo mu Buganda ’ Kibuuka Omumbaale we gwatuukira e Mpigi ,ekifo omukama wa Bunyoro Kabaleega we yafiira e Mpumudde n’ekifo awagwa ennyonyi omwafiira omugenzi Oyite Ojok e Nakasongora n’agamba nti byonna kati nsiko ng’abantu ssekinomu basobola okubyekulakulanyiza ne bayoola obutitimbe bw’ensimbi.

Yagambye abavubuka okutandika okunoonya awali ekifo ekisobola okuba eky’obulambuzi kyonna mu kyalo kyabwe bajje babuulire minisitule y’ebyobulambuzi ebayambe  mu kukikulakulanya batandike okunoga ennusu.

Yategerezza ng’omuwendo gw’abalambuzi abajja mu Uganda bwe gweyongeddeko ebitundu 9 buli 100 omwaka guno. N’agamba nti 2018 gwe mwaka Uganda gwe yakasinga okukola obulungi mu by’obulambuzi bukyanga efuna bwetwaze.

Yagambye Uganda ekwata kyamunaana mu by’obulambuzi kyokka embeera bw’enetambula bweti abantu ne batanawula ntalo na kwekalakaasa Uganda eyinza okutuuka mu kifo ky’okuna mu nsi za Africa ezisinga okujjamu abalambuzi.

Yagambye nti ensi empya nga China, Japan n’amawanga ga Buwarabu gasuubirwa okwongera ku bungi bw’abalambuzi abajja mu Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....