TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyasobya ku muyizi avuddeko bahedimasita okukyusibwa

Eyasobya ku muyizi avuddeko bahedimasita okukyusibwa

By peter ssaava

Added 20th December 2018

AKULIRA ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Wakiso, Fredrick Kiyingi Kinobe ategeezezza ng’omusomesa eyasobya ku muyizi bw’atakyalina mulimu okutuusa nga kkooti emaze okusala eky’enkomeredde mu musango ogumuvunaanibwa.

Tato 703x422

Abazadde nga balumbye akazigo Masaaba kw’abadde asula okumpi n’essomero lya St. Charles Lwanga Kakiri mu Wakiso.

Justus Masaaba Mwiru, eyali akulira essomero lya St. Charles Lwanga Kirugaruga mu ggombolola y’e Kakiri e Wakiso ye yasobya ku muyizi w’ekibiina ekyomusanvu bwe yamutega akakodyo k’okumukamulira obutunda.

“Omusomesa oyo yali akulira essomero lyaffe naye nga tetumanyi buze bwe era oluvannyuma lw’omuzadde w’omuyizi okwekubira enduulu mu boobuyinza, nga ffe abakulira ebyenjigiriza ne tusalawo tubeeko kye tukola era ne tusalawo agira atuula ku katebe nga bwe tulinda kkooti ky’eneesalawo.” Kinobe bwe yayongeddeko.

Yategeezezza nti singa kkooti eneemusingisa omusango, tagenda kubaako ssomero ddala ly’asomesaamu e Wakiso wabula bw’asinga omusango, ekitongole ky’ebyenjigiriza e Wakiso kyakulaba ekiddako nga tusinziira kw’ebyo ebinasaalwawo kkooti.

OKUKYUSA ABASOMESA KUTANDISE

Kinobe yayongedde n’ategeeza nti batandise okukola enkyukakyuka mu bakulu b’amasomero oluvannyuma lw’abazadde okuteeka akazito ku bakulira ebyenjigiriza ku ngeri abaana babwe gye basobezebwako abasomesa abaludde mu masomero.

Kinobe yategeezezza Bukedde nti enkyukakyuka zino zigenda kutuusa ku ntandikwa y’olusoma lw’omwaka ogujja n’ategeeza nti olusoma we lunaddiramu ng’okukyusakyusa abasomesa kuwedde.

Yayongeddeko nti, kino teyakikoze yekka ng’akulira ebyenjigiriza wabula yasoose kusisinkana kakiiko akavunaanyizibwa ku masomero ga pulayimale ne babaako ensonga kwe baatuuse okusalawo okukola kino.

Essomero lya St. Charles Lwanga Kirugaruga awaabadde Masaaba eyasobya ku mwana wateereddwaayo Rose Nakimwero eyavudde ku Katuuso P/S n’abalala bangi abakyusiddwa.

Kinobe yategeezezza nti enkyukakyuka zino zigenda kukolerawo awatali kulinda n’asaba abaakyusiddwa okugenda ku masomero gye baatwaliddwa bekenneenye bulungi ebiriyo ng’olusoma olupya terunnatandika.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...