TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eyiye abaserikale 6,000 okukuuma ekibuga

Poliisi eyiye abaserikale 6,000 okukuuma ekibuga

By Musasi wa Bukedde

Added 24th December 2018

Abaserikale mutwalo mulamba bassiddwa mu Kampala n’ebitundu ebirala okunyweza ebyokwerinda mu ggandaalo lya Ssekukkulu. Mu Kampala mwokka n’emiriraano mussiddwaamu abaserikale 6,000.

Embargo 703x422

Omuserikale ng’atwala Kiwanuka eyakazibwako erya Kamenke mu kaduukulu ka CPS oluvannyuma lw’okukwatibwa ku Lwokuna.

Kuliko abapoliisi n’abaamagye abajja okulawuna ekibuga mu nnaku enkulu. Abaserikale ababadde mu luwummula bayitiddwaayo okunyweza ebyokwerinda.

Kabangali za poliisi ennawunyi 24, nga buli emu eriko abaserikale mukaaga (bonna awamu 144) zigenda kubeera mu bifo we zinaayanguyirwa okutuuka buli wantu aweetaaga obuyambi.

Abaserikale abalala bajja kubeera ku pikipiki, abatambuza ebigere n’abalala abagumbye mu bifo we basobola okwanguyirwa okuva okuyambako ssinga wabaawo omutawaana.

Bano bassiddwa mu bifo by’obusozi bwa Kampala okugeza e Kibuli, ku ssinzizo lya Bahai e Kikaaya okumpi n’e Kisaasi.

Bano bagattiddwaako abali mu ngoye ezaabulijjo okuli n’abayambako okubuulira ab’Ebyokwerinda buli lwe wabaawo ekintu oba abantu be beekengedde. Bano kuliko ba “crime preventers”, abawa amawulire (informers) n’aba LDU.

Pulezidenti Museveni mu bukulu bwe ng’omuduumizi w’oku ntikko ow’ebitongole by’Ebyokwerinda yafulumizza ekiwandiiko n’agumya abantu nga bwe wassiddwaawo enteekateeka okukakasa nti ebyokwerinda biri gguluggulu mu nnaku enkulu.

Mu kiseera kye kimu poliisi eriko abasajja b’erondoola abazze bakwatibwa mu buzzi bw’emisango kyokka nga kati baayimbulwa. Kigambibwa nti bakyagenda mu maaso n’okunyaga.

“Tumanyi gye babeera ne gye banyagira. Tujja kubalondoola baleme kutigomya bantu”, poliisi bwe yategeezezza.

Bano kuliko n’abasala ensawo, abamenya amayumba, abateegera ku ATM n’awalala.

Abamu ku basembyeyo okuyimbulwa kuliko Bendicto Kiwanuka eyakazibwako erya Kamenke era we baamukwatira yavunaanibwa okuteega abantu n’abanyaga ku Kyaggwe Road okuliraana ewa Kisekka.

Waliwo Kudra Wasswa, Bisaso, Faizal Mukwaya asinga kubeera ku mwala gw’e Nakivubo, Hamid Mukwaya amanyiddwa nga Mabeete, Katongole amanyiddwa nga Nyaru, Muhammad Kyetunda ne Meddie Isabirye.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yakubirizza abantu nabo okufaayo ku byokwerinda kwabwe mu nnaku enkulu nga beekengera buli gwe batamanyi mu kitundu n’abo ababalondoola.

TEMUVA WAKA MWENNA - POLIISI

Owoyesigyire yagambye nti mu biseera bya Ssekukulu waliwo ebibinja ebitera okumenya amayumba naddala ago agalekeddwaawo abantu ne bagenda mu byalo. N’awa amagezi buli maka gasigalemu waakiri omuntu.

Yagasseeko nti poliisi erina enkalala z’abagambibwa okuba ababbi okuva mu bitundu ebyenjawulo era bangi bazze bakwatibwa kyokka eriyo bangi abalya obutaala.

Waliwo n’abaakwatibwa kyokka ne bayimbulwa oluvannyuma lw’okumaliriza ekibonero oba okubulwa obujulizi obubasingisa emisango.

Abo bonna bali mu ffe, tuyita nabo. Tukakasa abantu bonna okubeera ebeegendereza ku bantu abo mubatambulizeeko amaaso okulaba nga tababanyaga oba okubatuusaako obulabe.

EBIFO EBY’OKWEGENDEREZA KU SSEKUKkULU

Ebimu ku bifo abamenyi b’amateeka mu Kampala mwe basinga okuteegera kuliko Namirembe Road, ku mwala gw’e Nakivubo, Luwum Street, Burton, William Street nga kuno kusinga kubeerako abasala ensawo.

Abalala bateegera mu Kisenyi n’ebitundu ebirala.

WALIWO BAKANYAMA ABATEEGA KU NABUGABO

Oluguudo lwa Nabugabo kuliko akabinja akasinga okutigomya abantu naddala abagenda ku paaka ya bbassi kyokka akakulira Gideon Malongo abeera mu Kagugube e Makerere yakwatiddwa gye buvuddeko oluvannyuma lw’okunyaga omusuubuzi (amannya galekeddwa) eyeekubidde enduulu ku poliisi.

Omusango gwe guli ku fayiro SD:28/13/12/2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pala1 220x290

Omuwala afiiridde mu ssaluuni omulala...

Omuwala afudde mu ngeri erese ekitundu mu ntiisa sso ng’ate munne bwe baasuze mu muzigo gwe gumu addusiddwa mu...

Muhayiminanamuwayaowajkldolphinswakatingalwaniraomupiiraneroseakonkuddyonezainahlokamweriaba9317 220x290

Fayinolo ya liigi mu basketball...

Flavia Aketcho kapiteeni wa JKL ne Sarah Ageno owa UCU buli omu awera kulemesa munne kikopo.

Ju1 220x290

Laba ekyabadde ku Introduction...

Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n'erinnya eppya omwami we lye yamuwadde

Bobiwine4e1575702705296 220x290

Engule Bobi Wine gye yawangudde...

ENGULE Bobi Wine gye yafunye ey’omuntu asinze okulwanirira eddembe lyobuntu mu Afrika esuubirwa okumwongerako ku...

Kubayo 220x290

Basse omulaalo ne bamuziika ne...

ABATEMU balumbye amaka g’omusuubuzi e Kajjansi ne bawamba omulaalo. Baamututte ku lusozi e Kajjansi okumpi ne Nakigalala...