TOP

Sipiika wa Buganda azze engulu

By Musasi wa Bukedde

Added 24th December 2018

SIPIIKA wa Buganda Nelson Kawalya azze engulu oluvannyuma lw’okumala ennaku nnya ng’ali mu ‘kkoma’ mu kisenge omulabirirwa abayi ekya Intensive Care Unit (ICU) mu ddwaaliro e Mengo.

Laga 703x422

Sipiika Kawalya ku kitanda e Mengo.

Embeera yabadde ya bunkenke nga teri akkirizibwa kumulaba ng’ali ku byuma ebimuyamba okussa.

Era mu nnaku essatu ezaasoose yabadde tategeera biri ku nsi. Yasoose kufuna ssennyiga n’aba bubi ku Mmande nga December 17.

Ku Lwokubiri embeera yatabuse ne bamutwala e Mengo. Okutya kweyongedde olw’abantu abatono abakkiriziddwa mu ddwaaliro bwe bataasobodde kumulaba ne bakoma ku kuwandiika mu kitabo.

Katikkiro Charles Peter Mayiga y’omu ku bantu abatono abakkiriziddwa okumulaba.

Kyokka Katikkiro eyabadde ne mukyala we naye yamulambudde ku Lwakutaano ng’azze mu woodi ya Anne Walker (West Room 4) mu Albert Cook.

Yayogedde ne Bukedde eggulo n’agamba: Nnagwirwa ssennyiga omuzito n’okusesema, embeera y’obulamu bwange n’ebeera nga si nnungi.

Kwe kuleetebwa wano okutandika okujjanjabibwa. Mu ‘Intensive care’ nnavuddeyo ku Lwokutaano nga mpulira bulungi era neebaza Katonda olw’okusobozesa abasawo bano okunzijanjaba, mbalabye bakugu,” Kawalya eyabadde ayogera ng’omukka abaka mubake bwe yategeezezza. Dr. William Lumu y’amujjanjaba.

Yategeezezza nti agoberera bulungi amateeka g’abasawo okuli okumira eddagala mu budde.

Yagambye nti ayagala atuukirize amateeka g’abasawo asiibulwe adde eka, Ssekukkulu agiriire awaka.

Kawalya y’omu ku Bannayuganda abasinga ettutumu. Kabaka yamulonda okuba Sipiika mu 2013, kyokka ng’aweerezza nnyo mu Rotary okuva ku Rotary Club of Mengo, Rotary mu Uganda n’ensi yonna.

Akoleredde nnyo ekkanisa ya Uganda naddala Obulabirizi bw’e Namirembe gy’abadde omukubiriza w’Abakristaayo ow’obulabirizi bwonna okutuusa ekisanja kye lwe kyaweddeko omwaka oguwedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Netherlands1 220x290

Budaaki ewadde Uganda obuwumbi...

EGGWANGA lya Budaaki likubye Uganda enkata ya buwumbi bwa ssente bubiri, ziyambe mu kutumbuka eby’obulambuzi mu...

Mus12 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Masasi1 220x290

Bakutte omujaasi ku kutta aba Mobile...

BULIJJO abantu bamulaba n’ekidomola ky’amazzi ekya kyenvu, nga balowooza nti aguliramu mmere ya bisolo.

Top31 220x290

Aba NRM bawonye okupangisa

Aba NRM bawonye okupangisa

Det1 220x290

Bakkaanyizza ku by’okutwala abantu...

Bakkaanyizza ku by’okutwala abantu ku kyeyo