TOP

Ono emagombe asimbyeyo kitooke

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd December 2018

Ono emagombe asimbyeyo kitooke

Dab1 703x422

MUSAJJAMUKULU ono Ssekukkulu emwegaanyi. Gyabadde agenze okuginoonyezza bamukubiddeyo emiggo, amayinja n’ensambaggere era kigambibwa akyali mu ddwaaliro e Mulago gye yatwaliddwa poliisi ng’ataawa.

Abamulabyeko batugambye nti emagombe asimbyeyo kitooke. Ggaayi ono okukubwa n’okwambulwamu engoye kiddiridde okuyingira mu kikomera ky’omutuuze omu e Kitende ku lw’e Ntebe n’abbamu essimu n’emitwalo 50. Waliwo eyamulabye n’atemya ku batuuze ne bamugoba era obwedda abuuka ebibanda n’omunyago gwe ng’eno bwe yeeyambula engoye okubuzaabuza abamugoba.

Kigambibwa nti yabadde ayambadde engoye za mirundi ng’ena nga bw’aggyako eziri ku ngulu n’alabika bulula. Kyokka baamulemeddeko ne bamugoba okutuusa lwe baamukutte era poliisi y’e Kajjansi we yatuukidde okumutaasa nga bamaze okumwambula baagala kumukumako muliro kyokka nga feesi ewulubadde. Baamututte mu ddwaaliro e Mulago okufuna obujjanjabi kyokka tetumanyi oba yawonye

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe

Besigye1 220x290

Poliisi e Jinja ezzeemu okulemesa...

POLIISI e Jinja ezzeemu okukwata eyaliko pulezidenti w’ekibiina kya FD, Dr. Kizza Besigye n’emuggalira ku poliisi...

Abapangisa aba boda ne babatta...

Omu bamutuze omulambo ne bagwokya mu maaso