TOP

Abaana 111 babatiziddwa ku lutikko e Lubaga

By Musasi wa Bukedde

Added 26th December 2018

ABAANA 111 bafunye e Saakalamentu lya Batisimu ne bayingizibwa mu Ekleziya Katolika mu butongole. Baabatiziddwa mu kitambiro ky’emmissa ekyabadde ku lutikko e Lubaga ku Boxing day.

Bow 703x422

Faaza Emmanuel Kalema ng'abatiza omwana.

Bya LAWRENCE KIZITO

Faaza Emmanuel Calm Kalema eyakulembeddemu ekitambiro yasabye abazadde okwettikka obuvunaanyizibwa bwabwe, bakuze abaana bano nga bali mu kkubo lya Katonda.

“Mwetisse omugugu ogw’okulaba nga abaana bano tebava mu kkubo lya Katonda era mbasaba okukola obulungi omulimu guno, abaana mubayigirize eddiini, empisa, okutya Katonda n’okufuna amasaakalamentu, basobole okuweesa Katonda ekitiibwa.” Faaza Kalema bwe yategeezezza.

Yannyonnyodde nti Eklezia ezze ebatiza abaana abato, abatayogera nga tebasobola kwesalirawo kubanga Yezu yagamba mu Yowanne 3:5 nti tewali muntu n’omu agenda kuyingira Bwakabaka bwa Katonda, okujjako ng’amaze okuzaalibwa mu mazzi ne mu mwoyo.

Yagambye nti ffenna tetumanyi nkomerero yaffe ku nsi ng’omwana singa afa nga tazaaliddwa mu mazzi, abeera agenda kusubwa Obwakabaka bwa Katonda.

Yayongeddeko nti okusalawo okusooka ku mwana kulina kukolebwa bazadde ku lw’obulungi bwe nga y'ensonga lwaki bamutwala ku ssomero, bamuyigiriza okunaaba, okwaniriza obulungi abagenyi nga tannaba kwesalirawo.

Yakubirizza abantu okujuliranga Yezu Kristu mu buli mbeera mwe babeera, kubanga mu ye mwe muli obulamu.

Mu missa eno Faaza Kalema yayambiddwaako akulira abavubuka e Lubaga Faaza Simon Peter Ssekyanzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...