TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Buchaman bamuggalidde lwa kuyiwa nva za nneyiba ku Ssekukkulu

Buchaman bamuggalidde lwa kuyiwa nva za nneyiba ku Ssekukkulu

By Musasi wa Bukedde

Added 27th December 2018

Ye Omuyimbi Buchaman yakwatiddwa Poliisi ye Katwe eggulo n’aggalirwa nga bamulanga kuyiwa nva za muliraanwa we eza Ssekukkulu.

Buchaman 703x422

Buchaman eyakwatiddwa n'aggalirwa

Yabadde amulanga kufumba nnyama ng’ate ye ng’omulaasi talya nnyama.

E Kawempe Poliisi n’amagye baalemesezza abamenyi b’amateeka okutigomya ebyalo era ng’ekiro kya Ssekukkulu baakimazeeko bagobagana n’ababbi.

Twahir Kasembeza omumyuka w’atwala poliisi y’oku Kaleerwe yategeezezza nti abaserikale ba poliisi n’amagye baasuze balawuna ekitundu era nga baawaliriziddwa okuyimiriza ebivvulu byonna ku ssaawa 6:00 ez’ekiro.

Dan Ampadde atwala poliisi ye Ttula - Kawempe yategeezezza nti okuggyako ettamiiro mu bantu naye tebaabadde na misango gya kubba.

E Kanyanya abavubuka abamenyi b’amateeka obwedda baliimisa poliisi n’amagye nga gye bava ate bo gye badda.

Abantu bangi babbiddwa n’okukubwa abayaaye obwedda ababateega mu makubo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...