TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuserikale yeekubye essasi ku mutwe n’afiirawo

Omuserikale yeekubye essasi ku mutwe n’afiirawo

By Musasi wa Bukedde

Added 27th December 2018

Omukuumi wa kkampuni enkuumi eya Rock Security Services akutte emmundu ne yeekuba essasi ku mutwe n’afiirawo bw’abadde ku mulimu gw’okukuuma ne banne ku Ssekukkulu.

Stkl40332grande 703x422

Charles Okene abadde asula ku ofiisi za kkampuni gy’abadde akolera e Kalinaabiri zooni II mu muluka gwa Bukoto II mu munisipaali ya Nakawa ye yeekubye essasi ku mutwe n’afiirawo.

Kyabadde tekinnamanyika ekyamwessizza kuba kiteeberezebwa nti yeekubye mu bugenderevu.

Poliisi yagguddewo fayiro nnamba SD37/25/12/2018 omulambo gwa Okene ne gutwalibwa mu ggwanika mu ddwaaliro e Mulago.

Ate Poliisi e Namugongo yawaliriziddwa okukuba amasasi mu bbanga nga bagezaako okuyimiriza emmotoka eyakoonye abantu ababiri abaabadde batambuza ebigere, kyokka n’eteyimirira.

Luke Owoyesigyire omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yagambye nti akabenje kaabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu nga bukya.

Emmotoka ekika kya Toyota Gaia UAV 175T ye yakoonye abatambuza ebigere n’eteyimirira.

Kabangali ya Poliisi yagobye emmotoka eyakoze akabenje era abaagibaddemu baagivuddemu ne badduka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top11 220x290

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo...

Obadde okimanyi nti butto w’ensigo z’amapaapaali akola ku maaso ne kookolo ? Soma wano mu mboozi z'omukenkufu

Wat12 220x290

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula...

Kajjansi ekyusizza ekisaawe okuwandula Vipers mu Stambic Cup

Kot1 220x290

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti...

Eyali omubaka wa Lwengo mu palamenti Getrude Nakabira afudde

Faz1 220x290

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu...

Ssabasumba asindise bafaaza 8 mu luwummula n'akomyawo faaza Musaala

Lip2 220x290

Mungobye ku kyalo naye nja kufa...

Mungobye ku kyalo naye nja kufa n’omuntu