TOP

Museveni awabudde abamuteega ku mikolo

By Ali Wasswa

Added 27th December 2018

PULEZIDENTI Museveni atabukidde abantu abagifudde enkola okumulumbanga ku mikolo egyenjawulo gy’aba akyadde n’abasaba okukikomya kuba waliwo amakubo mangi mwe basobola okuyita okumutuusaako ebibaluma.

United 703x422

Museveni ne famire ye mu kkanisa ya St. Luke e Nshwere. Amuddiridde ku ddyo ye mukyala we Janet Museveni (akutte ku mwana).

PULEZIDENTI Museveni atabukidde abantu abagifudde enkola okumulumbanga ku mikolo egyenjawulo gy’aba akyadde n’abasaba okukikomya kuba waliwo amakubo mangi mwe basobola okuyita okumutuusaako ebibaluma.

Bino yabyogedde yaakafuluma ekkanisa y’Obusumba bwe Nshwere ku Ssekukkulu n’asanga nga waliwo ebibinja by’abantu abaavudde mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo nga; Rwenzori, Kasese, Hoima, Luweero ne Fort Portal nga bazze okumubuulira ebizibu byabwe.

Abantu olwamulengedde ng’afuluma ne baleekaanira waggulu nti, “ssebo Pulezidenti kkiriza owulirize ebizibu byaffe kuba abantu be watukwasa okutukolako tebatuyambye.”

Abamu baategeezezza nti baalwana naye mu nsiko, ate abalala obwedda balumiriza nga bw’aliko ebintu bye yabasuubiza kyokka nga tebabifunanga.

Abalala obwedda bamugumya nga bwe bakyali naye mu mbeera yonna wadde baliko bye babanja.

Abaserikale baafubye okutangira abantu obwedda abaagala okuwaguza okutuuka ku Pulezidenti era waliwo omukazi eyawaguzza n’amutuukako.

Ono Pulezidenti yamukwasizza akulira ebyensimbi mu maka g’obwapulezidenti Lucy Nakyobe akole ku nsonga ze. Pulezidenti eyalabise nga si musanyufu n’ekyakoleddwa, yagambye nti kibeera kikyamu omuntu okulowooza nti Pulezidenti olina kumusanga mu buli kifo gy’oba omuwulidde n’agamba nti babeera tebeeyisizza bulungi.

Abantu abasigadde Pulezidenti yabakwasizza omubaka we mu kitundu, Muhindo Amidamu n’amulagira okuwandiika amannya g’abantu bonna ng’ataddeko n’ennamba z’essimu oluvannyuma abimutwalire e Rwakitura.

Mu kusaba kuno Pulezidenti yawerekeddwaako mukyala we Janet Museveni awamu ne mukoddomi we Odrek Rwabwogo n’abantu abalala aba famire ye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...