TOP

Baze gwe mmaze naye emyaka 12 anjabulidde

By Musasi wa Bukedde

Added 27th December 2018

NZE Sarah Masaba 32, mbeera Kibiri e Busaabala. Ndi mukyala mufumbo nga tulina abaana bana mu kaseera kano.

Bashir 703x422

Wabula mu April wa 2018, baze yanjabulira n’abaana bange nga sitegedde nsonga yamutwala ku bbanga lye twali tumaze naye ery’emyaka 12.

Okuva baze lwe yatuleka, embeera yafuukira ddala nzibu olw’ensonga nti yatuleka mu kazigo nga tukyapangisa ekikaluubirizza obulamu bwange n’okulabirira abaana be yandekera nga balina n’okusoma.

Ensimbi z’okuweerera abaana ku ssomero nga bwe kiri kati nazo zifuuse kizibu olw’ensonga nti sirina mulimu gwe nkola gwa nkalakkalira okusobola okubayambako mu kusasula ebisale byabwe.

Ennyumba mwe nsula nnannyini yo yangobyemu era nsobeddwa awokudda kuba sikola ate nga ne bazadde bange banfaako.

Nsaba kumpa ku magezi. Kantwale omukisa guno okulabula abaana abawala bonna obutamalira maanyi gaabwe n’ebirowoozo byabwe ku basajja kubanga tebalwa kwefuula ne bwe muba mumaze naye emyaka.

Mbasaba bafune kye bayinza okwekolerawo obutanyigirizibwa nga basuuliddwaawo omusajja.

Nsaba n’abasajja mwenna gye muli obutasuulirira buvunaanyizibwa bwabwe naddala okulabirira abaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke