TOP

AbaChina balaajanidde Museveni ku bafere

By Moses Kigongo

Added 27th December 2018

ABA China bakaabidde mu lukiiko nga battottola ennaku n’okusoomoozebwa kwe bayitamu oluvannyuma lw’abamu ku Bannayuganda okubafera ssente zaabwe.

Kuumi 703x422

M engtho (ku kkono) ne Chen abagamba nti Bannayuganda babafera.

Bino byabadde mu lukiiko lwa bannamawulire olwatuuziddwa abamu ku bamusigansimbi abachina abaakulembeddwaamu Allen Chen ne Yan Meng Xiao ku wooteeri ya Ariranga e Nakasero n’ekigendererwa ky’okusaba Pulezidenti okuyamba bamusigansimbi ku Bannayuganda abatandise okubafera n’okubanyagako ensimbi zaabwe.

Bano baalumiriza Banayuganda okuli; Stanely Byamugisha, Christine Nakigudde ne munnamateeka Allan Mulindwa okubanyagako ssente ezisoba mu bukadde 200 oluvannyuma lw’okukolagana nabo mu bizinensi ate ne babalyazaamaanya.

“Tusaba Pulezidenti w’eggwanga lino ayingire mu nsonga zino kuba Bannayuganda batandise okututiisatiisa n’okumalamu bamusigansimbi amaanyi nga bayita mu kubanyagako ssente n’okubalyazaamanya”, Yan Meng Xiao bwe yategeezezza.

Bino we bijjidde ng’Abachina baakamala okulumba agamu ku maduuka ga Bannayuganda abakolera mu Kikuubo gye buvuddeko ne beekubira enduulu kyokka ne batafuna kuyambibwa ekintu ekyabawalirizza okwekubira enduulu eri Pulesidenti.

Wabula Byamugisha bwe yatuukiriddwa ku nsonga zino yegaanye ebimwogerwako ng’agamba nti ye yabanja omu ku ba China bano (Chen) era n’akakasa nti essaawa yonna amazima gagenda kuzuulwa ssinga omusango ogwo gunaaba gusaliddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana

Hat1 220x290

Ebivuddeko ettemu okweyongera

Ebivuddeko ettemu okweyongera