TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Famire ya Nkoyoyo esazeewo emalirize bye yaleka atandiseeko

Famire ya Nkoyoyo esazeewo emalirize bye yaleka atandiseeko

By Musasi wa Bukedde

Added 27th December 2018

Abooluganda lw’omugenzi Ssaabalabirizi Mpalanyi Nkoyoyo nga bakulembeddwaamu Damalie Nkoyooyo baakutuukiriza ezimu ku zaali entegeka ze nga bali mu keetalo ak’okutegeka omukolo ogw’okumanyagana, n’okwaniriza baganda baabwe be yaleka azudde okuva e Masaka - Kyotera, bazzukulu ba Musa Masiini.

Yoyo 703x422

Ennyumba empya nga bw'efaanana. Mu katono ye mugenzi Nkoyoyo

Yagambye nti okubaaniriza ku mbuga ya jjajjaabwe Erisa Wamala Nkoyoyo Kagiri e Matale, ye yali emu ku nteekateeka ez’amaanyi ze yali atandise okuteekamu amaanyi basobole okwegatta n’okukolaganira awamu ngabooluganda oluvannyuma lw’okumala ebbanga ng’abanoonya.

“ Kino tukikoze okutuukiriza n’okumaliriza obweyamo bwa muganda waffe omugenzi Mpalanyi Nkoyoyo obw’okuzza bannyinaffe ne baganda baffe abaali baazaawa. Omukolo guno yaguleka mu nteekateeka era yali agwesunze wabula obulwadde tebwamusobozesa era tukkiriza nti kino bwe kinaggwa omwoyo gwe gunaawummula mirembe.” Damalie Nkoyoyo bwe yagambye.

Yategeezezza nga bwe bakoze ekisoboka okuzza obuggya ennyumba eyali ey’omugenzi Kagiri eyali azaala Mpalanyi Nkoyoyo era nga bwe kyali mu ntegeka ze olw’abaganda baabwe abaali bagenda okwanjulwa mu kika.

Ye Erisa Kiwala Nkoyoyo yagambye nti, kya makulu okumanyagana olw’ensonga nti kisobozesa abantu ab’enjawulo okwetegeera nti basibuka mu lulyo lumu, n’okuteekawo omukwano ogw’abooluganda okubaako eky’amakulu ekirabika kye mukola kubanga ensibuko y’obugagga ye famire yo.

“Ensi okutabanguka mu ngeri etategeerekeka okulaba ng’ ab’ekika ekimu bafumbiriganwa, byonna biva ku butamanyagana noolwekyo ensonga y’okumanyagana nkulu mu b’ekika okwewonya amawemukirano ag’engeri ng’eyo.

Omukolo guno gwakubaawo nga December 29 2018 ku mbuga y’omugenzi Ssaabalabirizi Nkoyoyo gy’asibuka e Matale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana