TOP

Entambula y’emmeeri ya MV Kalangala ekyuse

By Samuel Balagadde

Added 27th December 2018

ABANTU abagenda e Kalangala okulya obulamu mu nnaku enkulu n’abatwalayo bizinensi beeyongedde.

Kalangala 703x422

Abantu ku mmeeri ya MV Kalangala.

Kino kiwalirizza abavunaanyizibwa ku mmeeri ya MV Kalangala okwongera ku mirundi gy’esaabaza abantu n’okukyusa obudde kw’esimbulira n’okugoba ku lukalu.

Kyokka enkyukakyuka eno yadde erina ky’eyambye, naye omujjuzo gw’abasaabaze gukyaliwo.

Kati emmeeri eno eya MV Kalangala ekola luutu ssatu olunaku okuva ku bbiri z’ebadde esaabaza abantu mu nnaku eza bulijjo.

Emmeeri eno esaabaza abantu okuva ku mwalo gw’e Nakiwogo e Ntebe okudda ku gw’e Lutoboka mu Kalangala.

Olw’obungi bw’abantu, katono abasaabaze bibabugume ku Ssande ng’abantu balwana okulinnya emmeeri e Nakiwogo.

Emmeeri eno kati esimbula okuva e Kalangala ku ssaawa 1:00 ku makya n’etuuka e Nakiwogo ku ssaawa 4:30 ate n’esimbula okuddayo ku ssaawa 5:30.

Ku ssaawa 8:30 evaayo n’edda e Nakiwogo. Ku ssaawa 11:00 esimbulayo n’etuuka e Kalangala ku ssaawa 1:30 ez’akawungeezi.

Henry Ategeka ow’ekitongole ky’ebyentambula y’oku mazzi mu minisitule y’ebyenguudo n’entambula yagambye nti okwongera ku mirundi emmeeri eno gy’etambula kyavudde ku bungi bw’abantu abava n’okudda ku bizinga by’e Kalangala okweyongera.

Yagambye nti bataddewo amaato agali obulindaala okwah− hanga obuzibu bwonna obuyinza okugwawo ku mazzi.

Ye Sadala Musoke akulira kkampuni ya National Oil Distributor Ltd abaapatanibwa minisitule y’ebyenguudo n’entambula okuddukanya emmeeri eno yagambye nti buli lukya abantu abadda n’okuva e Kalangala beeyongera.

Yasabye abantu okugondera amateeka agafuga emmeeri.

Yagambye nti wadde nga gavumenti eteekateeka okufuna entambula y’o ku mazzi endala okuva e Nakiwogo okudda e Kalangala, abasaabaze bandibadde bagumiikiriza ne batamala galinnya maato agatali ku mutindo.

Entambula okudda e Kalangala ku ludda lw’e Masaka yo tebadde na buzibu bw’amaanyi olw’ebidyeri ebibiri okuli MV Pearl ne MV Ssese ebiddukanyizibwa kkampuni ya Kalangala Infrastructure Services (KIS) okuva ku mwalo gw’e Bukakkata okudda e Kalangala okubeera nga bikola bulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pata 220x290

Abasajja bannemye okulondako

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri....

Send 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

NZE Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Bere 220x290

Ono si katono ‘abasibe’ bamwewagguleko...

MWANAMUWALA ono y’omu ku baabadde balya obulamu ku kivvulu ekyatuumiddwa Floral & Cocktail Party ekyabadde ku Jahazi...

Siri 220x290

Ababadde basekerera Julie ku bya...

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Wanted1 220x290

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba...

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne...