TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akwana abawala n’amala n'ababba poliisi emukutte

Akwana abawala n’amala n'ababba poliisi emukutte

By Musasi wa Bukedde

Added 27th December 2018

POLIISI ekutte omusajja agenda mu bifo ebisanyukirwamu n’akwana abawala oluvannyuma n’ababbako ebintu byabwe naddala ensawo.

Teka 703x422

Sseremba eyakwatiddwa n'aggalirwa

Sseremba Wasswa oluusi yeeyita Nsubuga, mutuuze w’e Najjanankumbi yakwatiddwa poliisi oluvannyuma lw’omuwala gwe yabbako ensawo okugenda ku poliisi e Lubowa naggulawo omusango nga bwe yabbiddwa abaserikale ne batandika okumunoonya.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, okukwata Sseremba kyaddiridde okulondoola essimu gye yabba ku muwala gwe yasanga mu Club Ambiance e Bukesa ne bagizuula ng’eraga nti eri Najjanakumbi abaserikale abanoonyereza ku buzzi bw’emisango ne bagenda yo ne bamukwata.

“Wabaddewo omusajja abadde akwana abawala baasanga mu bifo ebisanyukirwamu n’ababbako ensawo zaabwe ez’omu ngalo n’abula oluvannyuma lw’okubalimba nga bw’agenda okubatwalako wabula n’abaddukako” Owoyesigyire bwe yategeezezza.

Yagambye nti omuwala eyakwasizza Sseremba yabuulidde abaserikale ku poliisi e Lubowa nga bwe yamusanga mu Club Ambiance nga December 21, 2018 n’amukolako omukwano, bwe baali bafuluma yamutegeeza nga bw’agenda okumuvuga mu mmotoka era n’amusaba amukwatire ku nsawo ye n’amutwala e Najjanankumbi.

Yamuleka mu paakingi ng’amulimbye nti agenze kunona bisumuluzo bwe yagenda n’ensawo eyalimu essimu ne wallet eyalimu emitwalo 15 n’ebintu ebirala teyadda.

Yategeezezza nti okusobola okumukwata omuwala yafunye munne ne basobola okulondoola essimu era abaserikale ne bagendayo ne bamukwatira mu muzigo mwabadde asula ogusangibwa mu Namuli Zooni.

Yagambye nti abaserikale baasazeewo okwaaza omuzigo gwa Sseremba ne basangayo ensawo z’abakazi nnya, essimu z’omu ngalo musanvu, layini z’essimu 67, olupapula okwabadde nnamba z’essimu 17, densite z’abakazi ttaano ne kkaadi ya ATM, Ttivvi emu n’engoye z’abakazi era poliisi yamutadde ku nninga ayogere engeri gye yabifunamu.

Densite ezazuuliddwa ziri mu mannya g’abakazi okuli; Rebecca Nakyoni, Shakira Namugerwa, Shirah Babirye ne Erina Nakintu.

Yagambye nti poliisi yaakafuna abawala basatu abaakavaayo ne balumiriza Sseremba nga bwe yababbako ensawo zaabwe.

Sseremba akuumirwa ku poliisi e Lubowa oluvannyuma lw’okuggulwako omusango gw’obubbi oguli ku fayiro nnamba CRB 209/2018 ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kanta 220x290

‘Muntaase ku baana bange abanzibako...

OMUKADDE ow’emyaka 93 atabuse n’abaana be ng’abalumiriza okubeera mu kkobaane erimugoba ku ttaka lye balyeddize....

Bonnyjpgweb 220x290

Abadde ayanula engoye z'abatuuze...

Bonny Tamale omutuuze w'oku Kalerwe Kiggundu Zooni y'asimattuse okuttibwa abatuuze b'e Bwaise oluvannyuma lw’okumusanga...

Agende 220x290

Kkooti egobye egimu ku misango...

KKOOTI y’e Nakawa egobye omusango gw’obuyeekera ogwali gwaggulwa ku basajja 14 abagam- bibwa nti beenyigira mu...

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...