TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mayiga awadde abavubuka ensonga ttaano ez’okubakulaakulanya

Mayiga awadde abavubuka ensonga ttaano ez’okubakulaakulanya

By Dickson Kulumba

Added 29th December 2018

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asibiridde abavubuka ba Buganda entanda ng’eri mu nsonga ttaano ezigenda okubayamba okwekulaakulanya.

Wano 703x422

Katikkiro Mayiga ( ku kkono) ng’atongoza ettendekero ly’obukulembeze mu Buganda (Leadership academy). Ku ddyo ye Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, Hajji Ahmed Lwasa omumyuka wa Sipiika ne Dr. Twaha Kaawaase, omumyuka wa Katikkiro owookubiri era minisita w’ebyenjigiriza mu Buganda.

Mulimu; okwekuumira ku Kabaka, obukulembeze obulungi, okufissa ssente ze bakola, okuzitereka n’okusiga ensimbi mu bintu ebyenjawulo.

Yabyogeredde ku mukolo kwe yatongolezza ettendekero ly’abakulembeze mu Buganda n’alaga essanyu olw’abavubuka okwongera okwettanira emiramwa gy’obukulembeze nga bagikubaganyako ebirowoozo.

Baabadde ku Buganda Royal Institute e Kakeeka - Lubaga mu Kyaddondo. “ Eyo gye tukuhhaanira (kabineti) tutera okukubaganya ebiroowozo nga bwe baabagambye ku nsonga ezinazza Buganda ku ntikko.

Obukulembeze kintu kigaza kubanga mulimu okubeera ow’obuvunaanyizibwa, omwesimbu, omutetenkanya, omunyiikivu, olina okubeera omwangu, omuyiiya, olina okubeera omuntumulamu,” Katikkiro Mayiga bwe yagambye.

Mayiga yayongedde n’ategeeza nti ebbanguliro lino erigenda okubeera ku Buganda Royal lyakuyamba okubumbira Buganda abakulembeze era yasabye abavubuka okukomya omuzze gw’okwerumaaluma kubanga bayinza okubeera n’ekirubirirwa kye kimu kyokka ng’ekkubo ery’okukituukako lye lyawuka.

Omumyuka wa Sipiika wa Buganda, Hajj Ahmed Lwasa nga ye ssentebe w’enteekateeka eno eya Leadership Academy, yasabye okukwatira awamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...