TOP

Poliisi eyisizza amateeka ku bikujjuko by’okumalako omwaka.

By Martin Ndijjo

Added 29th December 2018

Poliisi eyisizza amateeka ku bikujjuko by’okumalako omwaka omuli n'ebivvulu by'abayimbi.

Bal1 703x422

Omwogezi wa poliisi Emilian Kayima (mu suuti) ng'ayogera ate amuddiridde ku kkono ye Balaam ng'alaga ezimu ku mpapula ze yafunye ezimuwa olukusa okutegeka ekivvulu kye.

Omwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Emilian Kayima asinzidde ku Sheraton hotel mu lukung’aana lw’abamawulire oluyitiddwa Ssabavvulu Balaam Barugahara ategese ekivvulu ekitumiddwa ‘Ugmix Dance party’ nga December 31 mu bimuli bya Sheraton

N’alabudde abagenda okwetaba mu bikujjuko bino okwewala okukola effujjo era bagoberere ebiragiro ebibaweereddwa mu bifo gye banaabeera okusobola okukuuma emirembe ate basanyuea mu mbeera ey’obuvunannyizibwa

Kayima agambye  nti poliisi ng’ekolera wamu n’ebitongole by’okwerinda ebirala bayungudde abasirikale abasoba mu 2000 n’embwa ennawunyi okunyweza eby’okwerinda n’obutebenkevu mu Kampala ne mu bifo awategekeddwa ebikujjuko

 okuva ku kkono artin redenoord omumyuka wakulira wooteri ya heraton alaam dger ulayigye  wa  ampala ne milian ayima okuva ku kkono; Martin Bredenoord omumyuka w'akulira wooteri ya Sheraton, Balaam, Edger Kulayigye DPC wa CPS Kampala ne Emilian Kayima.

Kayima agamba baweze okwokya ebipiira n’ebintu ebirala mu nguudo, okuvuga ng’otamidde, okuvuga ebidduka endiima, okukola effujjo n’ebirala era nga poliisi eyungudde basajja baayo abagenda okubeera mu bifo eby’enjawulo okutangira abamenyi b’amateeka.

Alabudde abategese ebivvulu n’ebifo abantu gye bagenda okusabira okumalako omwaka okukolagana ne poliisi okunyweza ebyokwerinda ate abatanafuna lukusa lwa poliisi oba okutuukiriza ebisaanyizo ebipya ebyasiddwawo ku bategesi b’ebivvulu tebagenda kukirizibwa kukola.

Abateeseteese okutulisa ebiriroliro mu kiro nabo bassiddwaako amateeka.

Kayima ategeezezza nti abantu ssekinnoomu n’amakampuni agasooba mu 900 be baasabye olukusa okutulisa ebiriroliro era basunsuddemu abatuukirizza ebisaanyizo omuli;

okumanyisa poliisi n’abantu abaliraanye ebifo byabwe nga bwe bagenda okutulisa ebiriroliro n’okuba nti tebikosa bulamu bwa bantu.

Mu kiseera ky’okubitulisa wateekeddwa okubeerawo abaserikale era tebiteekeddwa kusussa ddakiika 10 ate omuduumizi wa poliisi mu kitundu ekyo yeesigaliza obuyinza okuyimiriza okutulisa ebiriroliro mu kifo singa akizuula nti biyinza okuba eby’obulabe oba ng’ekifo si kitebenkevu.

Bano oluvannyuma lw'olukung'ana lwa Bannamawulire balambudde ekifo Balaam wategese ekivvulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...