TOP

Bashir ayongedde okunafuwa mu by'ensimbi

By Musasi wa Bukedde

Added 30th December 2018

Okunafuwa kwa Bashir mu byenfuna kuvudde ku bintu ebiwerako naye ebisinze ye South Sudan okufuuka eggwanga eryetwala mu 2011.

5de8966d55b1472f94ceb63daf40bcd818 703x422

Bashir

 

 

SSENTE ZIMUKENDEDDEKO

Okunafuwa kwa Bashir mu byenfuna kuvudde ku bintu ebiwerako naye ebisinze ye South Sudan okufuuka eggwanga eryetwala mu 2011.

Mu South Sudan y’eri enzizi z’amafuta ezisinga obungi kati ssente ezizivaamu Bashir zaamutwalibwako.

Ekirala Bashir anyigirizibwa nnatti ezaamussibwako Amerika olw’okuwagira abatujju era wadde zaddirizibwa mu October 2017, kyokka kino kyakolebwa Bashir amaze okukenena.

Alina eggye ddene nnyo ly’ayali ensimbi na buli kintu, kyokka kati takyasobola kubanga ssente tazirina ate banywanyi be okuli Misiri, United Arab Emirates ne Saudi Arabia ababadde bamupokera ensimbi nabo balina ebizibu kumpi ebibamalawo.

ABEEKALAKAASA BALI MU GGIYA

Okwekalakaasa kweyongedde ebbugumu ku Lwokuna n’Olwokutaano bwe kwasasaanidde enkingizzi za Kahartoum era abeekalakaasa ne basalako amaka ga Pulezidenti.

Okusaala Juma ku Lwokutaano kwatabuddwa mu Mizigiti gy’ekibuga Omdurman. Ebibuga ebirala yabaddeyo n’effujjo ly’okwonoona ebintu.

Ebibuga kuliko; Dongola, Atbara ne Al-Qadarif. Ku Lwokutaano okwekalakaasa kwatuuse mu bitundu Bashir gy’alina ennyo obuwagizi okuli Port Sudan mu bukiikakkono bw’eggwanga eryo.

EKIKYAMULEMEZZA MU NTEBE

Bashir akyalina obuwagizi mu bikonge n’abantu abalala abamulya mu ngalo era kino kiyinza okumulemeza mu buyinza.

Ekizibu ky’alina y’engeri gy’ava mu kattu k’ebyenfuna kubanga n’abeekalakaasa abasinga bantu be, ekibatabudde bbeeyi ya migaati n’amafuta bye batakyasobola kwetuusaako.

Bano nabo essuubi lyabakendedde, Bashir bwe yayogedde eri, eggwanga n’asooka awera bw’egenda okusesebbula abeekalakaasi ate amagye ne gaanukula nti go tegaggya kukozesa lyaanyi ku bannansi.

BASHIR AJULIZZA KULAANI

Ekirala Bashir omusajja amanyiddwa okukozesa eryaanyi n’okuwa ebiragiro, ku luno yasomye nnyiriri mu Kulaani ng’ajuliza ebigambo bya Nabbi Muhammad. Era n’ajuliza Kulaani okulaga engeri Allah (Katonda) gy’agenda okutereeza embeera.

Wabula abakulembeze b’ebibiina ebisinga okuwakanya Bashir abawera mwenda bonna baakwatiddwa ne baggalirwa mu buduukulu bwa poliisi mu kiibuga Khartoum.

Bano kuliko Siddiq Youssef owa Sudan's Communist Party, abakulira ebibiina ekya Ba'ath ne Nasserist.

Abantu 37 be baakattibwa mu kwekalakaasa kyokka Gavumenti yagambye nti bali 19 bokka nga kuliko babiri baserikale.

Munnamagye Lt. Gen. Mohammed Hamad Daqlou ng’ono mmundummenye eya Bashir yatandikawo eggye ezzibizi okukuuma ebitundu n’okuyambako amagye g’eggwanga bwe wabaawo obwetaavu yavuddeyo n’akolokota enfuga ya mukamawe n’agamba nti, Gavumenti etesobola kukola ku bizibu by’abantu ebisookerwako ng’ebbeeyi y’emmere eba egiremeddwa.

N’agamba: Gavumenti erina okutuusa obuweereza obulungi ku bantu, etuukirize obuvunaanyizibwa bwayo abantu ba Sudan basobole okubeera mu bulamu obweyagaza.

Teyakomye awo, yalagidde eggye ezzibizi obuteeyingiza mu byakukkakkanya beekalakaasa kubanga ensonga zaabwe zirimu eggumba.

Bashir yatuuzizza abakulembeze b’ekibiina n’abagumya nti tewannabaawo kiraga nti abeekalakaasi basobola okuggyako Gavumenti. N’abagamba nti embeera bw’eneetuuka okumweraliikiriza ajja kuggyayo n’amaanyi g’omu buto okubasaanyawo olwo atereeze eggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda

Hot1 220x290

Minisita amazzi gatutabukidde

Minisita amazzi gatutabukidde

Lit1 220x290

Omukazi atulugunya abaana bange...

Omukazi atulugunya abaana bange