TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Maureen Nantume bamukubyeko embooko y'omukazi n'awunga!

Maureen Nantume bamukubyeko embooko y'omukazi n'awunga!

By Josephat Sseguya

Added 31st December 2018

Maureen Nantume bamukubyeko embooko y'omukazi n'awunga!

Mo1 703x422

Muganza, mukyala we Natukwasa (wakati) ne metulooni we ku mukolo gw’okwanjula.

EMYAKA esatu egiyise, Charity Kiggundu yeegayirira omuyimbi Maureen Nantume amulekere bba gwe yali agenda okwanjula wabula Nantume teyamuwuliriza. Kati Nantume naye alaajanira mukazi munne, Claire Daaki Natukwasa aleme kumutwalira musajja kyokka era naye tawuliriziddwa era bba baamututte dda!

Yali April wa 2015 Maureen Nantume n’ayanjula Ronnie Muganza mu bakadde be e Mityana. Ku Lwomukaaga oluwedde, Nantume yakiguddeko bwe yategedde nti Muganza eyabadde yamutegeezezza eggulo limu nti alina by’agenda okukola e Mbarara, ekituufu yabadde agenze kwanjulwa muggya we.

Nantume yasoose kukkiriza bya Muganza naye bwe yalabye ekifaananyi nga Muganza ali n’omukazi babulidde mu mikolo gy’okwanjula, yakakasizza nti ddala abasajja basajjalaata era bazibu. Nantume ne Muganza balina omwana omu ow’emyaka esatu era yagenda okwanjula Muganza ng’ali lubuto lukulu.

Okwanjula kwaliko obukuumi obw’amaanyi olwa Charity eyali amaliridde okutabula omukolo oba bamusiba bamusibe. Natukwasa yayanjudde Muganza ku Lwomukaaga mu bazadde Omw. n’Omuky. Steven Daaki ab’e Mbarara -Kashari gye yatutte ente 14 ezaamusalirwa n’ebirabo ebirala bingi.

Ne ku mukolo gwa Maureen era Muganza yatwala ebirabo bingi. Natukwasa ne Muganza baludde nga baagalana era balina n’omwana omulenzi ow’emyaka ena. Ensonda zigamba nti Natukwasa yasirika nga Muganza agenda okwanjula Nantume nga bamusuubizza nti naye ajja kwanjulwa. Era yasigala waka ng’emikolo agiraba ku ttivvi.

Kyokka waliwo olugambo olwasooka okuyita nti Muganza eyali yaakanjulwa Nantume ate alina omuwala omulala eyali amwanjulidde e Rwanda era ekyo katono kitabule Natukwasa kubanga ye yalina okuddako.

Oluvannyuma kyakakasibwa nga tekyali kituufu n’aguma. Natukwasa ne Muganza babeera Nansana ate Nantume abeera Kitende ku lw’e Ntebe. Muganza ebisanja abigaba kyokka waliwo abagamba nti tabigaba kyenkanyi nga mu maka agamu alwawo okugendayo okuggyako okulabikira mu bubaga bw’amazaalibwa g’omwana waabwe.

Ebya Muganza obutamuwa budde bumala, Nantume azze abiwakanya kyokka ku bya Muganza okwanjulwa Natukwasa yasabye aleme kubyogerako.

Eby’obutamuwa budde byasiriikiriramu Muganza bwe yalabikako ne Nantume mu April wa 2018 mu kwanjula kwa Catherine Kusasira e Luweero naye ate ekyo nakyo kyayisa bubi Natukwasa eyali yakkaanya ne Muganza okwanjulwa Nantume wabula ng’ajja kusigala abeera ne Natukwasa ng’omukazi omukulu eyasooka Nantume mu kintu. Abako baasitudde Lwakutaano ne basula e Mbarara ekyabayambye okukeera e Kashari.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gat1 220x290

Nze ne Bobi Wine ffembi tugaggawalidde...

Nze ne Bobi Wine ffembi tugaggawalidde ku mulembe gwa Museven- Bebe Cool

Fot2 220x290

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde...

Emizannyo gy'abamusaayi muto gyengedde

Kib2 220x290

Sipiika Kadaga azzeemu okukola...

Sipiika Kadaga azzeemu okukola emirimu gye

Sab2 220x290

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa...

Kabaka Mutebi ayozaayozezza obwa Kabaka bwa Ghana okutuuka ku myaka 20

Got1 220x290

Omusawo bamusse agenze kuziika...

Omusawo bamusse agenze kuziika e Masaka