TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka alaze by'ayagala bikyusibwe mu bubaka bwe obw'omwaka

Kabaka alaze by'ayagala bikyusibwe mu bubaka bwe obw'omwaka

By Muwanga Kakooza

Added 1st January 2019

Kabaka alaze by'ayagala bikyusibwe mu bubaka bwe obw'omwaka

Kab1 703x422

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi mu bubaka bwe obuggalawo omwaka gwa 2018 obusomeddwa Waggwa Nsibirwa

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi asabye abantu okukuuma obuntu bulamu n’okulwanyisa enguzi bye yagambye nti biyamba  abantu okuba obulungi mu nsi engunjufu.

Ate  Ssabalabirizi Stanley Ntagali avumiridde ekibba ttaka , obukuubagano bw’ebyobufuzi olumu obwavaamu n’ababaka okulwanira mu palamenti n’asaba emize gino n’emirala egifung’amye mu nsi eno  bigende n’omwaka omukadde.

Bino byabadde mu kusaba kw’olusooka omwaka mu Lutikko e Namirembe Kwakulembeddwa Ssabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Stanley Ntagali nga kwetabiddwamu n’omulabirizi w’e Namirembe Kityo Luwalira.

Mu bubaka bw’omwaka omugya  obwasomeddwa omuwanika wa Buganda, Robert Waggwa Nsibirwa, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi  yagambye nti abantu okukuuma obuntu bulamu n’okuba n’ensonyi obutakola biswaza biyamba abantu okuba obulungi mu nsi engunjufu. Yategeezezza 2019 gube mwaka gwa kukola n’okusinga bwe gubadde mu 2018 n’akunga abantu okulwanyisa obulyake.

 

 Yasabye ebitongole bya gavumenti bikirizibwe okwetengerera bisobole okulwanyisa enguzi. N’agamba nti obukiiko obutali bumu obuzze bussibwawo okubuuliriza tebulina kinene kye bukozeewo n’agamba nti oluyimba lwa ‘’tonoonyereza’’ lulina okukoma wabeewo eky’amanyi ekikolebwa enguzi erinnyibwe ku nfeete. Yasasidde abafiriddwa abantu baabwe mu bubenje, endwadde n’okubuzibwawo mu ngeri zonna.

Ssabalabirizi Ntagali yagambye nti abantu balina okukola ennyo okufuna ssente kyokka n’agamba nti nga bakola kino balina okukulembeza Katonda.N’asaba obukyayi,obuli bw’enguzi n’emize emirala gigende n’omwaka omukadde.Yasabye abantu okulowooza ku bye bagenda okukolako omwaka guno era babiseeko omulaka.

N’agamba obukuubagano bw’ebyobufuzi,okulwanagana mu maka,okusadaaka abaana, n’okutwala abantu ebweru mu buddu bikome n’omwaka omukadde.Yagambye nti abavubuka beetaaga okufibwako ennyo bafune emirimu n’agamba nti ebbula ly’emirimu liretedde abavubuka okugenda ku byeyo olumu ne batuuka eyo ne bayisibwa ng’ensolo.

Yasiimye Pulezidenti Museveni olw’okussaawo omulamuzi Catharine Bamugemereirwe okulwanyisa ekibba ttaka. N’agamba nti lipooti bw’enaaba efulumye esaanidde ewebwe palamenti egiteseeko ekibba ttaka kisobole okunogerwa eddagala.Yasabye ababaka ba palamenti obutaddamu kulwanira mu palamenti omwaka guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Stabua2 220x290

Mbalinze nkya ku Obligatto- Stabua...

Stabua Natooro akoowodde abantu okweyiwa mu konsati enkya ku Club Obligatto

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...