TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ebizuuse ku muggya wa Nantume eyaakayanjula bbaabwe

Ebizuuse ku muggya wa Nantume eyaakayanjula bbaabwe

By Musasi wa Bukedde

Added 1st January 2019

Ebizuuse ku muggya wa Nantume eyaakayanjula bbaabwe

Baz1 703x422

EBIPYA byongedde okuzuuka ku mugole wa bba wa Maureen Nantume gwe yamuzzizzaako. Claire Daaki Natukwasa yasisinkana Ronnie Muganza mu 2013 gy’emyaka mukaaga emabega olwo Claire bwe yali akyasoma e Makerere mu yunivasite era katono emisomo gimuleme olwa ssente za Muganza ennyingi ze yamupokeranga. Baayagalana bulungi okutuusa December wa 2014 Natukwasa bwe yategeera nti, Muganza afunye ne Nantume owa Golden Band.

Muganza yayanjuddwa Natukwasa ku mukolo ogwabadde mu tawuni y’e Bwizibwera mu ssaza ly’e Kashari mu disitulikiti y’e Mbarara era bategeka mbaga. Muganza alina omwana ow’emyaka ena nga mulenzi mu Natukwasa ate Maureen Nantume alina muwala ow’emyaka esatu.

Nga Nantume ayanjudde Muganza, ensonda zigamba nti abamu ku behhanda za Muganza tebaali basanyufu ne basalawo okukola ekisoboka omuntu waabwe agende mu maaso ne Claire.

Abali ku ludda lwa Claire baakoze kyonna ekisoboka omukolo okuba ogw’omutawaana gusinge n’ogwa Nantume ogwaliwo mu April wa 2015 e Mityana era omu ku mikwano gya Muganza amanyiddwa nga Kananura ye yabadde mu mitambo gy’okukuhhanya emmotoka ez’ebbeeyi ezaawerekedde omuko nga muno mwabaddemu Range Rover Sport 10 n’endala ez’amaanyi nga Land Cruiser V8 gy’oyinza okugaya mu bako ze baatambuliddemu.

Steven Daaki, taata wa Claire musuubuzi omututumufu ate omulimi nga mulunzi e Ruhunga Cell mu Mbarara.

Claire naye musuubuzi atunda bikozesebwa mu kisenge byonna okuviira ddala ku kitanda, amasuuka, bulangiti, emifaliso ne kalonda omulala. Maureen muyimbi wa Golden band. E Makerere, Natukwasa yasoma Social Work and Social Administration

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...

2 220x290

Aba KCCA babakuutidde okuba abalambulukufu...

Abakozi b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga Kampala ekya KCCA bakubiriziddwa okubeera abalambulukufu...

Wed9 220x290

Laba ekyali ku Mbaga ya Bobi Wine...

Yalonda ennaku z’omwezi ezeefaananyiriza Kabaka ze yagattibwako ne Nabagereka kye yava yaliwo nga 27 August 2011...

Kidnap4 220x290

Poliisi ezingizza ababadde bawamba...

ABA LDU bazingizza abavubuka ababadde bagezaako okuwamba omuwala wa yunivasite, ne babakubamu amasasi okukkakkana...