TOP

King Saha akoowoodde abantu okujja mu bungi mu kivvulu kye

By Martin Ndijjo

Added 2nd January 2019

Bukedde atadde bukadde mu kivvulu kya King Saha ekigenda okubeera e Lugogo ku Lwokutano olujja

Sa 703x422

Simo Omunene w'omu kibuga owa Bukedde(ku kkono) ate wakati ye Flavia Namulundwa owa Bukedde Tv ne King Saha mu lukung'aana lwa Bamawulire

“ABAWAGIZI bange mbalinamu ennyonta, mbeepikira era mugenda kutegeera King Saha y’ani mu kukuba omuziki.

Oluvannyuma lw’emyaka ebiri nga sikola kivvulu, nkomyewo na nkuba mpya mbalage waaka era mu kiseera kino ndi mu kutendekebwa n’okugogola eddoboozi ntuuke ku lunaku mulindwa nga njokya.”

lavia amulindwa ngalaga emu ku tshirt za aha ezigenda okugabibwa ku v Flavia Namulindwa ng'alaga emu ku t-shirt za Saha ezigenda okugabibwa ku Tv

Okwewaana kuno King Saha akukoledde ku kitebe kya Vision Group mu lukiiko lwa bannamawulire.

Omanyi Saha ng’amannya ge amatuufu ye Manisoor Ssemanda ategese ekivvulu kyatuumye ‘‘Biri Biri concert’’ ekigenda okubeera ku Kyadondo Rugby Grounds e Lugogo nga January 11, 2019. Okuyingira 20,000/-, 50,000/- ne 1,000,000/- emmeeza.

Ekivvulu kino kitegekeddwa aba Humble Management ne kiwagirwa Vision Group efulumya ne Bukedde. Nga January 12, agenda kubeera ku Satellite Beach e Mukono ate nga January 13 Nimrod Beach e Luwero.

Ye Simo Omunene w'omu kibuga ku lwa bukedde agambye nti Vision Group egenda kulanga ekivvulu kino ng’ekozesa emikutu gyayo okuggyayo amaanyi ga King Saha era abalabi ba Bukedde Tv nabbo bagenda kufuna omukisa okwewangulira ku tikiti ezibatwala mu kivvulu kino ne T-shirt.

King Saha abamu gwe bayita kabaka w’ennyimba z’omukwano bwabuuziddwa ku nsonga za mukyala we oba gy’ali era y’ani ono agambye nti wakumulaga eri abawagizi mu kivvulu era abakunze okweyiwayo mu bungi bamuwagire.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sky2 220x290

URA eggaddewo SkyLight Arcade abasuubuzi...

WAABADDEWO akassattiro mu kibuga abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya Sky Light Arcade bwe baasanze ng'amaduuka...

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.