TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abawakanya bashir bamuwadde essaawa 72 alekulire

Abawakanya bashir bamuwadde essaawa 72 alekulire

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd January 2019

PULEZIDENTI wa Sudan, Field Marshall Omar Hassan Ahmad al-Bashir bakyamuyuuya nga kati ebibiina by’obufuzi 22 byegasse ku beekalakaasi okumusindiikiriza okuva mu ntebe gye yaakamalamu emyaka 29 kyokka naye engabo egirumizza mannyo.

46910170401 703x422

Bashir

Abakulembeze b’ebibiina byobufuzi 22 bikoze omukago ogutuumiddwa ‘National Front for Change’ ne bawa Pulezidenti Bashir nsalessale wa ssaawa 72 ng’alekulidde oba ssi ekyo bagenda kumuggyako n’eryaanyi ly’abantu nga bayita mu kwegugunga n’okwekalakaasa okutabangawo mu byafaayo bya Sudan.

"Bashir tumuwadde essaawa 72 zokka okulekulira mu mirembe, aweeyo obuyinza eri akakiiko ke tugenda okukkaanyaako oba ssi ekyo tugenda kumuyisa nga aba Libya bwe baayisa Gaddafi," Mubarak Elfadel nga ye ssentebe w’ekibiina ekya Umma Party, ekimu ku bibiina 22 ebifungizza okutwalaganya Bashir bwe yategeezezza.

Bino biddiridde okwekalakaasa okwatandise nga December 19, oluvannyuma lw’ebbeeyi y’amafuta, ehhaano, emigaati n’ebirala ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo okulinnya n’ekubisibwamu emirundi ebiri kyokka Bashir n’alabika ng’akomye takyalina ky’agamba bannansi okugumira embeera.

Bashir azze ebintu bimwoononekako mpolampola ng’entabwe eva ku byenfuna okudobonkana okuva mu 2011, Sudan lwe yakutulwako ettundutundu ery’omu bukiikaddyo eryali lisingamu enzizi z’amafuta ne lifuulibwa eggwanga eryetongedde erya South Sudan.

Ebya South Sudan okwekutula bye byegatta ne ku nnatti z’ebyenfuna, Amerika ze yali yakaliga ku Sudan okuva mu 1993 ne gujjabagira.

Pulezidenti wa Amerika Donald Trump ne bwe yasazeewo mu October 2017 okuddiriza nnati, tekirina kye kyayambye Bashir kubanga embeera erudde ng’eyonooneka mpolampola okutuusa bannansi ba Sudan lwe baggweereddemu ddala obugumiikiriza n’essuubi ne basalawo nti Bashir agende.

Omukago gw’ebibiina byobufuzi ogwa ‘National Front for Change’, gwegasse ku mukago gw’abeekalakaasi abeegattira mu kisinde eky’abeebibiina ebyenjawulo eby’abantu abakola emirimu egy’ekikugu ekya, “Association of Sudanese Professionals”, abaatandika okwekalakaasa nga December 19 lwe baalangiridde nti Pulezidenti Bashir 74 bagenda kumuyisa mu ngeri y’emu ng’Abamisiri bwe baakola Hosni Mubarak mu 2011.

Olutalo ab’ebibiina byobufuzi 22 lwe baalangiridde ku Bashir lweyongedde ebbugumu ekibiina ky’ebyobufuzi ekya, ‘Sudan Reform Now’ , ekibadde mu gavumenti ya Bashir bwe kyalangiridde nti kyabulidde gavumenti.

Kino kyegasse ku kibiina kya Umma Party ekyasoose okwabulira gavumenti ya Bashir ku Lwokuna oluwedde ne kyegatta ku bibiina ebirala ebiri ku ludda oluvuganya.

Wabula ekibiina ekiri mu buyinza ekya National Congress Party (NCP) kyatudde eggulo ku Lwokusatu ne kyongera okuwera nti Pulezidenti Bashir talina gy’agenda ka gwake k’etonnye.

Ssaabawandisii wa NCP, Hassabo Mohamed Abdel Rahman yagambye nti Pulezidenti Bashir ssi waakutiisibwatiisibwa n’agamba nti bashir akyali Pulezidenti okutuuka 2020 ekisanja kye lwe kiggwaako at’era agenda kuddamu okwesimbawo ku kisanja ekirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...