TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abantu bagenda kukkirizibwa okwesogga palamenti okuteesa ku bibaluma

Abantu bagenda kukkirizibwa okwesogga palamenti okuteesa ku bibaluma

By Muwanga Kakooza

Added 3rd January 2019

BASSENTEBE ba disitulikiti bagenda kukung’anira mu palamenti ya Uganda bakubaganye ebirowoozo ku nsonga ezikwata ku kutuusa obuweereza ku bantu ba bulijjo n’enkozesa ya ssente z’omuwi w’omusolo.

Parliament703422 703x422

N’abantu ba bulijjo nabo bagenda kukkirizibwa okutuula mu palamenti ng’ababaka  okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezitali zimu eziruma eggwanga.

Bino bye bimu ku bikujjuko ebitegekeddwa okukuza wiiki ya palamenti ey’omwaka guno enaabeerawo wakati wa January 13 ne January 19.

Amawulire agaafulumiziddwa palamenti gaategeezezza nti bassentebe ba distulikiti bagenda kukkirizibwa okuyingira palamenti bakubaganye ebirowoozo ku by’okutuusa obuweereza ku bantu n’enkozesa y’ensimbi z’omuwi w’omusolo. Era beegatibweko n’abantu ba bulijjo mu wiiki y’emu okukubaganya ebiroozo nga basinziira mu palamenti awatuula ababaka.

Guno ssi gwe mulundi ogugenda okusooka abantu ba bulijjo okukkirizibwa okwesogga palamenti okuteesa.

Palamenti ekikola buli mwaka okukuza wiiki ya palamenti n’okuyamba mu kumanyisa abantu emirimu gyayo.

Ebikujjuko by’okukuza wiiki ya palamenti  bijja kubaako okukumba mu nguudo z’omu Kampala, okusaba n’okwolesa ebintu ebitali bimu ebikolebwa palamenti.

Ebyo nga biri awo, palamenti  egenda kuddamu okutuula ku Lwokubiri lwa January 8, 2019 oluvannyuma lw’okuva mu ggandaalo lya ssekkukkulu lye yagendamu mu December 2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabakafitri1 220x290

Kabaka ayagalizza Abasiraamu Idd...

KABAKA Ronald Muwenda II alagidde Bannayuganda okukuuma emirembe n’okusonyiwagana mu kiseera kino ng’Abasiraamu...

Mknded4 220x290

Famire eziyiridde mu nnyumba nga...

Abasiraamu mu kibuga ky’e Mukono baaguddemu encukwe ku Iddi munnaabwe eyabadde akedde ku maliiri okufumba emmere...

Mknmm3 220x290

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa...

Ddereeva okuva e Mutukula asangiddwa Mukono ng’alina Corona virus-atwaliddwa mu kalantiini n’abalala babiri be...

Ssaavasennyonga 220x290

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere...

Paasita Ssennyonga awaddeyo emmere ya bukadde 300 okudduukirira abali ku muggalo

Lockdown309 220x290

Eyali awola ssente azzeeyo mu nnimiro...

ENSWA bw'ekyusa amaaso naawe ng'envubo okyusa ne Charles Tamale envubo agikyusirizza mu nkumbi okubaako ettofaali...