TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssaabasumba avumiridde ababaka ku tteeka ly’okusomesa abaana eby’omukwano

Ssaabasumba avumiridde ababaka ku tteeka ly’okusomesa abaana eby’omukwano

By Musasi wa Bukedde

Added 4th January 2019

Yennyamidde olw’abantu abatamanyi Katonda ku mitima gyabwe ekivaako okukola ebikolobero kuba babikola tebalina kutya kwonna nga y’ensonga lwaki ebikolobero byeyongedde mu ggwanga

Kaaso 703x422

Ssaabasumba Lwanga ku ntaana y'omugenzi Nviiri (mu katono) nga bategeka okumuziika.

SSAABASUMBA wa Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga mwennyamivu eri ababaka ba Palamenti abaayiisa etteeka ery’okutandika okusomesa abaana eby’omukwano mu masomero ky’agambye nti bigenda kwonoona abaana.

Ssaabasumba okwongera bino yabadde mu kuziika kojja we, John Nviiri 61, eyaziikiddwa ku kyalo Kaaso mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso.

Yennyamidde olw’abantu abatamanyi Katonda ku mitima gyabwe ekivaako okukola ebikolobero kuba babikola tebalina kutya kwonna nga y’ensonga lwaki ebikolobero byeyongedde mu ggwanga era n’asaba abakungubazi okuyiga okusonyiwa kuba kye kintu kyokka ekitangira omuntu okwewala okukola ebikolobero.

Ayogedde ku mugenzi Nviiri n’agamba nti abadde muntu mukulu mu kika nga yeebuuzibwako ku nsonga ezimu era ng’abadde omuntu omutabaganya kuba abadde takirizza kulaba ng’abantu be basowaganye. 

Yeebazizza buli muntu akoze ekisoboka okulaba nga bajjanjaba omugenzi nga bamanyi nti wakuwoona naye Mukama n’amujjulula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata