TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paasita Kiganda ne Bujingo kati balinnya mu kimu

Paasita Kiganda ne Bujingo kati balinnya mu kimu

By Musasi wa Bukedde

Added 7th January 2019

PAASITA Bujingo aludde ng’agugulana ne musumba munne David Kiganda wabula okulwanyisa enteekateeka Gavumenti gy’eyagala okuleeta ku bannaddiini kubagasse.

Kigandaandbujing 703x422

Paasita Kiganda ne Bujingo

Ku mulundi ogusookedde ddala mu myaka egisukka etaano, Bujingo yasiimye Kiganda okuyita olukiiko lw’abasumba ku Imperial Royale ku Lwokuna mwe baasinzidde okuwakanya enteekateeka gavumenti gy’eyagala okuleeta okuluhhamya bannaddiini.

Mu nteekateeka eno mulimu okuwandiisa bannaddiini n’okussaawo ebisaanyizo bye balina okubeera nabyo omuli n’okutendekebwa mu by’eddiini.

Bujingo yagambye nti olw’obumu obwayoleseddwa Kiganda ng’agatta abasumba abalala, kye kiseera abasumba okwegattira awamu naddala ku nsonga ezibanyigiriza.

Kyokka yalumirizza omusumba Joseph Serwadda owa Victory Christian Centre mu Ndeeba nti yeekobaana ne Minisita avunaanyizibwa ku kukwasisa empisa Faaza Simon Lokodo okubaga enteekateeka eno.

Wabula bino Serwadda aludde ng’abyegaana ng’agamba nti talina kakwate ku kuleeta nteekateeka eno, wadde ng’ebimu ku bigirimu akkaanya nabyo.

Kigambibwa nti enteekateeka eno erimu Faaza Lokodo wamu ne Rev. Can. Aaron Mwesigye avunaanyizibwa ku by’eddiini mu Minisitule y’okukwasisa empisa n’obuntubulamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...