TOP

Bakutte abatunda zaabu ow'ebicupuli

By Eria Luyimbazi

Added 7th January 2019

Poliisi ekoze ekikwekweto ku kkampuni ezisuubula n'okutunda zaabu n'ekwata abafera abantu nga babaguza zaabu ow'ebicupuli.

Zaabu3 703x422

Anton Chsherbakov okuva mu ggwanga lya Kazakhstan yakwatiddwa mu bifere.

Bya Eria Luyimbazi


POLIISI ekoze ekikwekweto ku kkampuni ezisuubula zaabu nga kigambibwa nti bannyinizo babadde bazikozesa okufera abantu ssente eziri mu buwumbi.
Kino kiddiridde abamu ku bantu abaaferebwako ssente zaabwe nga balimbiddwa nti babaguzizza zaabu okwekubira enduulu ku poliisi ne ofiisi ez’enjawulo, nga bwe waliwo abafere abaggulawo kkampuni mwe basinziira okubabbako ssente zaabwe nga babalimbye nga bwe babaguzizza zaabu.


Omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Vincent Ssekate yategeezezza nti waliwo abasajja abaawandiisa kkampuni ez’enjawulo era ne bafuna ne satifikeeti nga beefudde abatunda zaabu kyokka ne bakomekkereza nga babbye abantu.


“Okunoonyereza kwakoleddwa ku kkampuni ssatu okuli; Benal group ne Transmwani ezisangibwa e Muyenga ne Mabasha Africa Logistics International Ltd esangibwa e Bugoloobi. Zino zirina layisinsi wabula ng’abaziddukanya babeemulugunyaako olw’okufera abantu.”
Yambye nti mu kikwekweto baakwatiddemu bannansi b’e Congo okuli  Jeanot Imiakani Bokwete, Kelvis Essoa ne Thiery Baraka Mugisha ssaako  Anton Chsherbakov okuva mu ggwanga lya Kazakhstan, era bano bazziddwa mu mawanga gwabwe.


Bano baakwatiddwa ne Bannayuganda Abel Omonoi ne Moses Mperekezi.
Ssekate yagambye nti abafere bano bawandiisa kkampuni zaabwe era ne bafuna satifikeeti, oluvannyuma ne bagiteeka ku mutimbagano nti bagula zaabu, era abakolagana nabo tebamanya nti bakolagana na bafere.
Yagambye nti omuntu gwe basikiriza okuva ebweru w’eggwanga okujja okugula  zaabu bamutwala mu kifo we bagamba nti we bamusaanuusiza nga bamulaga omutuufu gw’asooka okutwalako oluvannyuma ne bamusaba ssente okumuwa zaabu omulala.


Yagambye nti abafere bano bakolagana ne bannamateeka naddala mu kubaga endagaano kwe balimbira nti batunda era ng’abamu poliisi yafunye ebibakwatako kuba amannya gaabwe galabikidde ku ndagaano abafere bano kwe babbidde ssente ku bantu.
Ssekate yasabye abaagala okugula zaabu beekwate ebitongole ebyokwerinda ebisobola okukebera ebikwata ku kkampuni ezisuubula n’okutunda zaabu.


More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako