TOP

Ekivvulu kya David Lutalo kyengedde

By Martin Ndijjo

Added 7th January 2019

Ekivvulu kino ekitumiddwa David Lutalo live in Nakusiima kya January 25 Cricket Oval e Lugogo

Lutalo1 703x422

okuva ku kkono: Ivan Lukwago

OMUYIMBI David Lutalo takyebaka. Asiiba n’okusula ng’awawula ddoboozi atuuke ku Lwokutaano nga January 25, nga teririimu wadde akasaaniiko.

Ng’ayanjula enteekateeka z’ekivvulu kye mu butongole mu lukung’aana lwa Bannamawulire olwatudde ku kitebe kya Vision Group leero.

Maneja we Ivan  Matovu yasoose okwogera nategezza ng'omuyimbi we bw’ali mu mbeera ennungi era ennaku akeera mu jjiimu kusala amasavu n'okutendekebwa okwa kaasammeeme

Oluvannyuma Lutalo abadde ayogezza amaanyi atandise na kuyimba ‘akapeera’ ka luyimba lwe olwa Wooloolo agambye nti kino kye kivvulu ekiggulawo omwaka n’olwekyo buli muntu anyumirwa omuziki tasaanye kusubwa.

Eddy Ssendi ku lwa Musa Kavuma omutegesi ategezezza nga buli kimu bwe kiwedde era eby’okwerinda bigenda kubeera binywevu nga bikulembeddwamu Uganda poliisi, siteegi n’ebyuma byamulembe era essawa yonna tikiti zigenda kugenda ku katale okwewaala akanyigo okuzigula ku lunaku lw’ekivvulu.

Ekivvulu kino ekitumiddwa David Lutalo live in Nakusiima kigenda kubeera Cricket Oval e Lugogo okuyingira 20,000/- ne 50,000/-.

Ku Lwomukaaga ali ku Colline Hotel e Mukono ate ku Ssande abeere ku kisaawe e Luweero ate nga February 14 ku Freedom City. Vision Group afulumya ne Bukedde be bamu ku bawagidde ekivvulu kino.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kid1 220x290

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita...

Oluvannyuma lwa Fresh Kid okuyita interview olwaleero aweereddwa ekifo ku Kampala Parents

Ham2 220x290

Mugisha Muntu alonze basatu mu...

Mugisha Muntu alonze basatu mu Buganda

Hot5 220x290

Eyali n'abagambibwa okutta omwana...

Eyali n'abagambibwa okutta omwana ne bamuziika ayiggibwa

Wat2 220x290

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo...

Poliisi n’amagye bagumbye e Namugongo

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana...

kkooti egobye ogw’ettaka e Mityana