TOP

Bannayuganda abafumbo battiddwa mu bukambwe e South Africa.

By Martin Ndijjo

Added 7th January 2019

Bannayuganda abafumbo battiddwa mukwano gwabwe abadde ababanja ssente mu bukambwe e South Africa.

Uga2 703x422

Ritah Nalwanga ne Joshua Mutaasa

Joshua Mutaasa ne mukyala we Ritah Nalwanga abasuubuzi nga batuuze b’e Rustenburg mu South Africa be battiddwa.

Okusinzira ku Jonathan Mateege omutuuze w'e Kitintale mu Kampala mwanyina wa Nalwanga ategezezza nti bano agamba bano batemuddwa mukwano gwabwe Suliman Kamya abadde abanja Mutaasa ssente emitwalo ena (40,000) eza Rand (mu za Uganda obukadde 12) ze yamuteresa nga bwapanga bizinensi ey’okukola.

 

Kamya okwekyawa natemula banne kigambibwa kivudde ku kubanja Mutaasa ssente ze yamuteresa nga bwanoonya bizinensi ey'okukola naye nga Mutaasa tazimuwa.

Ku Lwokuna yagenze mu maka ga Mutaasa okumusaba ssente ze kyokka Mutaasa  n'atamufaako. Ekyaddiridde, kigambibwa yageze Nalwanga ali mu ffumbiro, n'amulumba n'amukuba akatayimbwa akamuttiddewo. Oluvannyuma nti yayise Mutaasa ajje alabe ekituuse ku mukyala we kyokka nga tamugambye nti yamusse.

Mutaasa mu kukka wansi Nalwanga we yabadde agudde, naye omuvubuka ono we yamukubidde akatayimba n'afa oluvannyuma emirambo yagikumyeko omuliro.

Mateege agamba yasembye okwogera ne Nalwanga ku Lwokusatu okuddamu okumuwuuliriza ku Lwokutano nga bamugamba nti bamusse.

Okusinzira ku mawulire, omwogezi wa poliisi Col. Moatshe Ngoepe yakakasizza okuttibwa kw’abafumbo bano era n'ategeeza nti  n’omuvubuka agambibwa okubatemula yakwatiddwa ku Lwokutaano ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso,.

Omukungu omu ku kitebe kya Uganda e South Africa ataayagadde ku mwatuukiriza mannya ng’ayogerako n’olupapula lwa New Vision ku ssimu yakakasizza ettemu lino era agamba bali mu kukola ku mpapula ezineeyambisa mu kutambuuza emirambo okuzzibwa ku butaka.

Omu ku mikwano gy’abagezi,  Jafar Ocom ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book,  yategeezezza nti, “ Mutaasa nasoma naye (OB) ate mukyala we Ritah yaali mulirwaana wange e Kitintale mu Kampala,”

Yagasseeko nti bali mu nteekateeka za kukuma lumbe mu maka ga kitaawe wa Mutaasa e Kansanga mu Kampala ate okusinzira ku Mateege, Nalwanga wakuzikibwa Jinja gye bazalibwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...