TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssemujju akyakalambidde ku bya Katuntu okukwasa Munyagwa entebe

Ssemujju akyakalambidde ku bya Katuntu okukwasa Munyagwa entebe

By Kizito Musoke

Added 8th January 2019

Nampala w’oludda oluvuganya Gavumenti, Ibrahim Ssemujju Nganda akalambidde ku kya Abdu Katuntu okukwasa Mubarak Munyagwa obwassentebe w’akakiiko akalondoola emirimu gy’ebitongole bya Gavumenti aka COSASE akaddamu okutuula olwaleero.

Aaaaaaabig703422 703x422

Ssemuju Nganda

Waliwo okusika omuguwa ku kiseera akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gya bbanka kye kalina okumala.

Abakulira oludda oluvuganya Gavumenti bagamba nti Katuntu n’omumyuka we balina okuwaayo lipooti obutasukka January 13, 2019 ekisanja lwe kiggwaako.

Baalonda Mubarak Munyagwa (Kawempe South) ku bwassentebe ne Moses Kasibante (Lubaga North) ku bumyuka bwassentebe.

Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga gye buvuddeko yayongezaayo ekisanja kya Katuntu okutuuka nga February 20, kibasobozese okumaliriza lipooti enaaba evudde mu kubuuliriza.

Kyokka Ssemujju akalambidde n’ategeeza nti Katuntu alina okuwaayo obuyinza eri Munyagwa.

Ku nsonga eno yagambye nti yamaze n’okuwandiikira Sipiika Rebecca Kadaga ebbaluwa ng’amuwabula ku ngeri y’okumalawo okusika omuguwa okuliwo.

Yagambye nti ekirina okukolebwa ye Katuntu okuwaayo entebe ewa Munyagwa kuba kye kiri mu mateeka.

Eby’obutayongezaayo kiseera kya kakiiko, Kadaga yabiyita bya kusaaga kuba tebasobola kubiteekesa mu nkola n’ategeeza nti ye Sipiika yekka ali mu Palamenti.

Ababaka abalala abatuula ku COSASE okuli Sarah Temulanda (mukazi/Mpigi) ne Florence Namayanja (Bukoto East) bawagira eky’okwongezaayo ekisanja kya kakiiko.

Baagambye nti enkyukakyuka ze baagala okuleeta zigenda kukyusa ababaka abawerako nga kijja kuzibuwaza abanaabasikira okukola lipooti.

Luttamaguzi Semakula (Nakaseke South) yageraageranyizza Sipiika ku ddiifiri w’omupiira asobola okwongeramu obudde oluvannyuma lw’eddakiika 90 okuggwaako.

Yasabye babaka banne bwe bali ku ludda oluvuganya obutamala budde mu kusika omuguwa.

Olwaleero akakiiko kasuubirwa okutandika okusisinkana abaali bakulira ne bannanyini ba bbanka 7 ezaggalwa oluvannyuma lw’okumaliriza Bbanka Enkulu.

Ababaka babuuliriza ku mbeera ya bbanka gye zaalimu nga tezinnaba kuggalwa, eby’obugagga bye zaalina, amabanja n’emitendera egyayitibwamu okuziggala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Benitez22 220x290

Benitez munyiivu olwa Newcastle...

Newcastle yeggyeeko omutendesi Benitez oluvannyuma lw'endagaano ye okuggwaako.

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana