TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Obunkenke bweyongedde e Congo nga balinda okulangirira akalulu k'Obwapulezidenti

Obunkenke bweyongedde e Congo nga balinda okulangirira akalulu k'Obwapulezidenti

By Musasi wa Bukedde

Added 8th January 2019

OBUNKENKE bweyongedde mu DR Congo nga balindirira akakiiko k’ebyokulonda okulangirira ebyavudde mu kulonda.

Ceni 703x422

Congo, MMANDE

We bwazibidde eggulo nga tebannaba kutegeeza lunaku lutuufu lwe bagenda kulangirira.

Baabadde basuubira kulangirira omuwanguzi mu kalulu kano ku ku Ssande, kyokka ku Lwomukaaga nga wabulayo ssaawa busaawa olunaku lwa Ssande lutuuke, abakulira akakiiko ne bategeeza nti baabadde baakakuhhaanyaako makkati ku bye basuubira, ekiyinza okuzibuwaza okulangirira ebyavudde mu kulonda.

Akulira akakiiko, Corneille Nangaa n’ategeeza nti babisuubira wiiki eno kyokka teyawadde lunaku lutuufu.

Abaavuganyizza mu kalulu kano baabadde 21 kyokka kuliko basatu abatunuuliddwa okuvaako omuwanguzi. Bano kuliko Pulezidenti Joseph Kabila gwe yasimbawo; Emmanuel Ramazani Shadary n’abali ku ludda oluvuganya okuli Felix Tshisekedi ne Martin Fayulu.

Eklezia katolika wiiki ewedde yatuuzizza olukuhhaana lw’abamawulire ne bategeeza nti baateekawo abatunuulizi ababadde balondoola okulonda kuno kyokka okusinziira ku bye bazudde, omuwanguzi yeeyoleka dda ne bakubiriza gavumenti by’ekola ebikole mu mazima erangirire omutuufu.

Wiiki ewedde Amerika yasindise amagye gaayo okukuuma bannansi baayo n’ebintu eby’omugaso bye balina mu Dr. Congo.

Olw’embeera eriwo abamu ku bannansi bafulumye Congo ne baddukira mu mawanga ag’omuliraano nga Rwanda ne Uganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo