TOP

Omukazi yeezinze ku Don Nasser lwa kumufera doola emitwalo 25

By Musasi wa Bukedde

Added 8th January 2019

Omugagga Don Nasser amanyiddwa mu kumansa ssente n'okuvuga mmotoka ez'ebbeeyi, omukazi amulumirizza okumufera doola emitwalo 25, ayagala amuliyirire doola emitwalo 30.

Donnasser3new 703x422

Don Naser (ku kkono) ne mikwano gye mu Serena wiiki ewedde.


DON Nasser eyeegulidde erinnya mu kumansa ssente n’okuvuga mmotoka ez’ebbeeyi, ebibye bibi kkooti bw’emulagidde ateeke doola 300,000 mu kkooti ng’omusingo mu mwezi gumu gwokka. Bw’alemererwa emmotoka ye ekika kya Rolls Royce eboyebwe ekuumirwe ku kkooti okutuusa ng’omusango gw’okufera doola 250,000 mu ddiiru ya zaabu guwedde okuwulirwa.

Kino kiddiridde omukazi Stella Harriet Slack okumuwawaabira mu Kkooti Enkulu etawulula enkaayana z’ebyobusuubuzi mu Kampala nti yamufera doola 250,000 mu ddiiru ya zaabu z’ayagala kkooti emuwalirize aziseseme.
Don Nasser ng’amannya ge amatuufu ye Nasser Nduhukire omusango gwe guli ku fayiro nnamba CS 867/2018 era ekiragiro kino kiweereddwa omumyuka w’omuwandiisi wa kkooti eno Lillian Bucyana.
Omuwaabi Stella Harriet Slack obujulizi bwonna yabuyisa mu bannamateeka be aba Crane Associated Advocates ne Bbaale & Partners Advocates era ayagala kkooti eno eragire Don Nasser asasule ddoola 250,000 nga kuliko n’amagoba ga bitundu 20 ku buli 100.

Mu mpaaba ye agamba nti mu August wa 2017 Don Nasser yamutuukirira n’amuyingiza mu ddiiru ya zaabu.
Don Nasser yamutegeeza nti alina abantu abaagala okutunda zaabu abali mu United Arab Emirates, era n’amusaba doola 300,000 okusobola okumukebera okuzuula nti si wa kikwangala n’okumuleeta ku mmeeri.

Don Nasser yamatiza omukyala nti bw’anaatundibwa bajja kugabana ssente.
Wano Slack kwe kubuguma n’atuukirira bba Wayne Slack n’amutegeza ku ddiiru eno era n’akkiriza okumuwa ssente

Omuwaabi ne bba nga bakozesa kkampuni yaabwe beewola doola 330,000 okuva mu Aldbra Ltd. okusobola okuyingira mu ddiiru eno.
Bwe baabawola, omukyala kwe kusindika doola 300,000 ewa Don Nasser.

Wabula omuwaabi agamba nti Don Nasser yabawa lisiiti enjingirire nga ne kkampuni egiriko teriiyo eyitibwa Generox International Ltd. eyakebera obutuufu bwa zaabu.

Agamba nti Don Nasser olwafuna ssente n’atandika okumubuzaabuza era omukyala mu 2017 nga guggwaako kwe kumanya nti omuvubuka ono amubuzaabuza n’aloopa omusango ku CPS fayiro nnamba 46/18/12/2017 nga gwa kukozesa lukujjukujju n’amuggyako ssente.

Don Nasser yakwatibwa mu September wa 2018. Nga bali ku  CPS baakola endagaano n’asasulako doola 50,000 ne bamukwata ne ku katambi ke baawadde kkooti eno.

Ye Don Nasser mu kwewozzaako mu buwandiike agamba nti baamukwano n’omuwaabi, wabula mu bya bizinesi tebakwatagana.
Era yeegaana okuweebwa doola 300,000 wadde okubaako ekiwandiiko kyonna ky’ajingirira.

Wabula akkiriza nti mu September baamukwatako n’atwalibwa ku CPS bwe yabuuza ne bamutegeeza nti omukyala agamba yamufera ye kwe kuwaayo doola 50,000 okusobola okumuggyako omusango era ne bakola endagaano nga September 22, 2018.

Ekiragiro ky’okuteeka omusingo gwa doola 300,000 mu kkooti oba bbanka bw’aba alemereddwa babowe emmotoka ye ekika kya Rolls Royce kiba kitegeeza nti singa omusango gusinga Don Nasser, gye basobola okutunda n’afuna ssente ze oba okutwala doola 300,000 z’ataddeyo ng’omusingo.
Don Nasser omwaka oguwedde yakwatibwa ng’Omumerika John Hill amulumirizza okumubbako doola za Amerika 700,000 mu ddiiru ya zaabu bwe yamuguza ow’ekikwangala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.